TOP

Ivan Ssemwanga yaggwaamu oba yakoowa okumansa ssente?

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2017

Ivan Ssemwanga eyayatiikirira ennyo olw'okumansa ssente kirabika ebintu tebimutambulira bulungi!

Ivanssemwanga32 703x422

Ssemwanga ne Cheune nga beebulizabuliza ku ssimu oluvannyuma lwe'abantu okusaba babamansize ku ssente nabo beeyagale

Ivan Ssemwanga eyayatiikirira ennyo olw'okumansa ssente kirabika ebintu tebimutambulira bulungi!

Ono yakomyewo mu ggwanga kimpowooze obutafaananako nga bw'ebadde enkola ye.

Yalabiddwaako mu bbaala ya Cayenne e Bukoto kyokka owa kkamera mutasubwa olwagimutunuzzaamu n'agezaako okugyebalama n'okwebulizabuliza ku ssimu n'okunyuminkiriza muganda we Cheune.

Bano beekukumye mu nsonda emu okugezaako okubuzabuuza abadigize abaabadde batandise okwetegereza Ssemwanga. 

Emmeeza kwe yabadde atudde yamaze akabanga nga nkalu olwo abadigize abaakitegedde nti ye mugagga Ssemwanga ne batandika okubitebya nti ekyamuggye e South Africa kyandiba nga si kitono.

Abalala obwedda bamuwaanawaana ave gy'ali bayoole ku mutete naye buteereere.

Baalabye teri kanyego ne batandika okubitebya nti kirabika naye embeera emukubya kaga, oba oli awo y'ensonga lwaki yakomyewo mu kimpowooze.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cab1 220x290

Obululu bwa CHAN bwakukwatibwa...

Obululu bwa CHAN bwakukwatibwa nga 17 omwezi ogujja

Tr2 220x290

Engeri gy’ofuuka makanika wa mmotoka...

Engeri gy’ofuuka makanika wa mmotoka yo

Say1 220x290

Oluwaanyi ddagala ku ndwadde z'ensusu...

Oluwaanyi ddagala ku ndwadde z'ensusu

Jab2 220x290

Endwadde 9 omujaaja ze guwonya...

Endwadde 9 omujaaja ze guwonya

Lip1 220x290

Alumwa ennyingo kola dduyiro ozikkakkanye...

Alumwa ennyingo kola dduyiro ozikkakkanye