TOP

Chamilli yeekoze obusolo ng’ajaguza emyaka 38

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2017

OMUYIMBI Jose Chameleone ebintu bye ne mukyala we mu njogera ennyangu oyinza okubiyita katemba.

Save1 703x422

Kati ku mulundi guno bwe yabadde ajaguza okuweza emyaka 38, yazzeemu buto okulaga mukyala we eri abantu ng’oyinza okulowooza nti bali ku mukolo gwa kukuza bufumbo bwabwe.

Bwe yamaze okusala keeki ku ssaawa 7:00 ogw’ekiro ku bbaala ya Cayenne ku Ssande (mu kifaananyi ku kkono), Chameleone eyabadde ne mukyala we Daniella Atim, bagyeriisizza nga Chameleone y’asoose okubatika ekitole olwo n’akiriisa Daniella nga kiri mu kamwa .

Oluvannyuma baagabudde abagenyi era omukolo ne gugenda mu maaso.

 

Yagambye abawagizi be nti, yazaalibwa 1979 n’awakanya abagamba nti, asala emyaka.

Ku mulundi guno teyayimbye okuggyako ab’ebbaala okukuba ennyimba ze ng’abantu bwe bazina.

Bangi abaabadde balabika obutamanya nti baddiηηana ne mukyala we era baabirabidde awo nga beekuba obwama n’okweraga amapenzi.

Omukolo gwatandikidde mu maka ge e Seguku gye yasalidde embuzi n’abawagizi be abamuwagira ku mikutu gya Social Media ate ekiro ne giggweera mu bbaala.

Abalala abaabaddeyo ye Mumbejja Nkinzi, Leila Kayondo ne Pallaso (mu kifaananyi waggulu). n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono