TOP

Amaka ga Ivan Ssemwanga amatiribona gatundibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2017

Amaka amatiribona agagambibwa okuba aga Ssemwanga wano mu ggwanga gatundibwa.

Kukola1 703x422

Cheune (ku kkono), Ssemwanga (wakati) ne King Lawrence nga bali ku maka gaabwe e Muyenga.

Ennyumba eno etemagana, erina ebisenge mukaaga ebisulwamu, eddiiro erituulwamu, ekifo awawummulirwa, ekidiba ekiwugirwamu, jjiimu, oluggya olunene n’ebirala aba kkampuni ya Ram Properties etunda n’okugula ettaka n’amayumba bagitadde ku mukutu gwabwe ogwa Facebook kwe balangira ebintu bye batunda era bagamba nti etundibwa ssente obukadde 1.7 eza ddoola (mu za Uganda obuwumbi mukaaga).

Eno efaananira ddala ennyumba bulijjo Ssemwanga gye bayita amaka gaabwe aga “Rich Gang” gye beekubisizaamu ebifaananyi mu 2015 nga balaga ddoola.

Wadde omu ku bakozi ba kkampuni ataayagadde kumwatuukiriza mannya yatugambye nti ennyumba eno ya Ssemwanga, Edward Cheune mmemba wa ‘Rich Gang’ era nga muganda wa Ssemwanga bwe yabuuziddwa ku ssimu, bino yabiwakanyizza n’agamba nti ennyumba aba Ram gye balanga eri Munyonyo ate eyaabwe (eya Ssemwanga) eri Muyenga n’agattako nti kirabika gye batunda ndala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba