TOP

Lutalo ne Chris Evans balojja laavu y’abakazi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th June 2017

Lutalo ne Chris Evans balojja laavu y’abakazi

Hi1 703x422

Lutalo ne Evans nga balojja omukwano gw'abakazi

Bya Musasi waffe

OMUYIMBI David Lutalo yalina omukazi, omuvubuka gwe yajja mu kyalo Benzie n’abatabula. Ne Chris Evans azze aganza abakazi kyokka bonna bamumenye omutima nga kati ali mu kunyiga biwundu n’eyasembayo omugagga yamumubbako n’amukuba embaga.

Bwe baasisinkanye nga banyumya ku bulamu bwabwe obw’obufumbo, baagenze okulaba nga balina bingi bye bafaanaganya kyokka ng’ekisinga okubagatta be bakazi okubamenya emitima olwo buli omu n’abuuza munne nti omukwano gwange nguwe ani?

Gye byaggweeredde nga bakoze oluyimba lwe batuumye ‘Nguwe ani?’.  

Chris Evans:  Mu kitundu kye agamba nti: abawala si beesigwa, balimba, babonyabonya abasajja ng’ate tebalina ngeri gye beerwanako. Babakuba kibooko kyokka nga tebasobola kuloopa nga batya okubasiba.  

Ayongerako nti yalina omuwala n’amwagala n’omutima n’aguwaayo, ssente n’amuwa kyokka omugagga n’amutwala. Ekimuluma nti abawala b’omu kyalo n’ekibuga  bonna be bamu ne yeebuuza nti lwaki ajjula n’atalya.

Yategeezezza nti bwe yafuna omulala naye ne bamutwala kubanga yali kikwangala nga yeewuunya lwaki alina omukisa mu bakazi ab’embaliga.

Baafuna babeera beegonzagonza so nga ba genero mu bwenzi era eby’abakazi yabivaako  yeebeera eyo yekka.

Ate David Lutalo: agamba nti omukazi nga waakamufuna taba na buzibu, omuyita ayitaba, emize gye abeera agikwekereza nga yeerungiya nga yenna abeera nga malayika.

Bwe wayitawo ebbanga atandika kuwenyuka, ayogera atulika ng’emberenge, akomawo atomera amalebe ng’olwo n’omwenge gumukutte emimwa n’ebigere.  

Ali ku ssimu akuba n’obukule nga n’olungereza ayogera nti ‘‘I can stay without you’’.    

CHRIS EVANS OKIKOLA OTYA?

Agamba nti engeri omuziki gye gugenda gukaluba, yaddayo okusoma essomo ly’okubala ebitabo (CPA) ng’ali mu mwaka gwakubiri. Kuno agattako okulunda enkoko n’okulima ng’abikolera Nakasongola. Alina n’ebintu ebirala ng’amayumba g’abapangisa era akubiriza abantu okwekubiriza okutereka embeera obutabanyiga. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laga 220x290

Aba NRM ababeera mu mawanga g'ebweru...

SSABAWANDIISI wa NRM Kasule Lumumba asabye Bannayuganda abali mu mawanga g’ebweru okukomya okusiiga ensi yabwe...

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...