TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Abtex bamusuuzizza omupiira gw’amasaza n’akolimira Mmengo

Abtex bamusuuzizza omupiira gw’amasaza n’akolimira Mmengo

By Musasi wa Bukedde

Added 13th July 2017

Entabwe yavudde ku bategeka empaka z’emipiira gy’amasaza okumusuuza eggaati.

Abtex1 703x422

Abtex mu kinene KT Kavuma mu katono

OMUTEGESI w’ebivvulu era nnannyini Abtex Promotions ali mu kukolima.

Entabwe yavudde ku bategeka empaka z’emipiira gy’amasaza okumusuuza eggaati.

Agava e Mmengo galaga nga baamuggyeeko ddiiru y’okutegeka empaka z’amasaza ez’akamalirizo ne bagiwa omuntu omulala.

Gye buvuddeko yali alumba Musa Kavuma owa KT Promotions okwekiika mu ddiiru ye.

Bwe twakubidde Abtex eyabadde ayogeza ennaku yagambye nti, ‘mukulu, ebyo eby’amasaza nabirekedde Mukama Katonda’ kubanga endagaano gye nnakola n’abakulu b’e Mmengo ey’emyaka etaano baagimenye era nataddeyo dda okuwaaba kwange mu kkooti kubanga sijja kukkiriza kufiirwa mmaali yange gye nateekamu.

Adam Ssematiko omukwanaganya w’ebyemizannyo e Mmengo yategeezezza nti ddiiru baagiwadde Musa Kavuma (mu katono) owa KT Promotions.

Yayongeddeko nti emirundi ebiri Abtex gy’abayambyeko okutegeka empaka zino waliwo ebintu bingi ebitatambudde bulungi ne basalawo bamuveeko.

Ku ky’okugenda mu kkooti baagambye nti waddembe okwekubira enduulu bw’aba alaba nga kye kinaamutuusa ku buwanguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.