TOP

Beekubye enguumi lwa 3,000/-

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2017

KYANI kya kondakita, kyani kya musaabaze. Ssebo tojja kutambulira bwereere, bw’oba tolina ssente ggyamu engatto ompe n’essimu.

Malamu 703x422

Ebyo bye bimu ku bigambo kondakita n’omusaabaze bye baasoose okuwanyisiganya nga tebannaba kwekuba bikonde, okweyuliza engoye n’okwevulungula mu kasasiro.

Baabadde ku kyalo ky’e Nakyesanja e Kawanda. Kondakita wa takisi nnamba UAT 156B, Ibra Matovu okutabuka kiddiridde okutwala omusaabaze okuva e Luweero okutuuka e Kawanda kyokka bwe yamusabye ssente ze 3,000/- ze yatambulidde n’adda mu kwebuzaabuza.

Olwafulumye mu takisi n’ateekako kakokola tondeka nnyuma kyokka ga tazirina.

Matovu yamusimbyeko ekikumi n’amukwatira e Nakyesanja. Yamusabye engatto n’essimu n’abigaanira ekyaddiridde kukubagana nguumi n’okwevulungula mu ttaka.

Omusaabaze yagenze okuva wansi nga bamuyulizza empale n’engatto ne bazimuggyamu ssaako n’essimu ne bagitwala.

Matovu yagambye nti yatandise okusaba abasaabaze ssente nga bali Matugga ono ng’awoza nti ziri ku Mobile Money ate bwe yatuuse waaviiramu yadduse misinde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini