TOP

DJ Erycom omuziki gumuliisa nga mulimi

By Musasi wa Bukedde

Added 24th July 2017

DJ Erycom ng’amanya ge amatuufu ye Eryck Mutebi (ku ddyo), obwa DJ ng’amba okutabula omuziki butandise okumuliisa ng’omulimi.

Erycom1 703x422

DJ Erycom

DJ Erycom ng’amanya ge amatuufu ye Eryck Mutebi (ku ddyo), obwa DJ ng’amba okutabula omuziki butandise okumuliisa ng’omulimi.
 
Abadde yaakava mu Polland ate n’afuna ddiiru y’okutalaaga ssemazinga wa Asia mu October w’omwaka guno.
 
Atandikira mu China mu kibuga Guangzhou gye yayitiddwa Bannayuganda ababeerayo, Malaysia gy’agenda okukubira omuziki
mu bayizi Bannayuganda abasomerayo mu kibuga Kuala Lumpur ne Japan gye yayitiddwa ekitebe kya Uganda mu Japan n’oluvannyuma agende e Dubai gye yayitiddwa aba Rham Events.
 
DJ Erycom yagambye nti okuva lwe baamuwa amawulire gano ali mu kutendekebwa okwa kaasammeeme asobole okutuuka mu bivvulu bino ng’ayokya n’okukakasa Abazungu nti omulimu g’obwa DJ agutegeera.
 
Wabula yeesunga kugenda Japan gy’agamba nti waliyo ba DJ be baludde nga bamuwaanira baayagala okusirisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...