TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Geosteady ayawukanye ne mukazi we n'alangira abawala Bannayuganda

Geosteady ayawukanye ne mukazi we n'alangira abawala Bannayuganda

By Glorias Musiime

Added 31st July 2017

Omukazi yali tasobola kinziimba nemukyaawa-Geosteady

Pic2 703x422

Omuyimbi Geosteady

Omuyimbi Geosteady  ng’amatuufu ye George Kigozi akakasizza nga bw’ayawukanye ne mukyala we era mama w’omwana we amanyiddwa nga Prima.

Bino abyogeredde mu yintaviyu gye yabaddemu n’owoolugambo lwaffe e Buziga gye yabadde agenze okuwuga n’okulya ku bulamu.

Agamba nti amaze ne mukazi we emyaka mukaaga era amulinamu omwana omu ow’obuwala naye nti ebbanga eryo lyonna abadde muguminkiriza.

Ayongerako nti  yeesanze nga omukazi gwe yali amanyi nti anaamuziimba tasobola kubaako ky’amwongerako naddala ku birooto bye kwe kusalawo amute era kino yakikola emyezi mukaaga emabega.

Geosteady  ategeezezza owoolugambo lwaffe nti ensonga endala azaamukyayizza abadde mininkini we tayagala kuziteeka mu mawulire n’agamba nti aba Bannayuganda tebeewa kitiibwa nti era bw’aba waakuddamu kuwasa aleeta Munyarwanda kuba bawala balungi ate beewa ekitiibwa.

“Nze saagala mukazi agenda  kunsaba ssente mu buli kimu, alina okuba ng’asobola okwegulira engoye, n’enviiri, saagala mukazi asabiriza,” bw’atyo Geosteady  bw’agamba.

Geosteady y’opmu ku bayimbi abakutte akati ensangi zino olw’ennyimba ze ezinyumira abadigize omuli; Owooma, Viola, n’endala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...