TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Thiery Ssali ateebye ggoolo 8 Bebe Cool ne yeewaana: 'Nze nteeka ssente wendaba'

Thiery Ssali ateebye ggoolo 8 Bebe Cool ne yeewaana: 'Nze nteeka ssente wendaba'

By Glorias Musiime

Added 2nd August 2017

Alpha Thiery Ssali, mutabani w’omuyimbi Bebe Cool ateebye ggoolo 8 ne 'asisiti' 5 mu mpaka e Bulaaya n'acamula kitaawe.

Alpha 703x422

Theiry Ssali asooka ku ddyo

Omanyi Ttiimu ya Edgars Academy mw'azannyira emaze wiiki nnamba e Bulaaya nga bazannya emipiira egyenjawulo.

Wabula agavuddeyo galaga nti Alpha yakubye ggoolo munaana n'akola ne 'asisiti' 5 mu wiiki emu, ekintu ekiwadde kitaawe essanyu n'amuyozaayoza okumusanyukirako ng'ayita ku Facebook.

” Kiwa essanyu okussa ssente awantu n'ofuna amakungula.....................,” Bebe bwe yawandiise ku peegi ye eya Facebook.

Wabula kino kikuddeko abamu ku bagoberezi be 'waya' ku mitwe ne bamulumba nga bagamba akole ebisinga kw'ekyo. Kyokka abalala bakira bamusuuta nti ky'akoze okusuumuusa ekitone kya mutabani we, omuzadde yenna ayagala omwana ebirungi ky'alina okukola.

Alpha ye mwana waabwe asooka ne Zuena nga ono alina emyaka 13. 

Alpha azannyira mu Edgars academy wano e Uganda era nga yekyasinze okuzanya mubaana abato.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kalooo 220x290

Karitas Kario ayogedde ekyamuggya...

Karitas Kario ayogedde lwali yava mu Golden band. Yeegaanye eby’okubeera mu laavu ne Ronald.

Sib1 220x290

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera;...

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera; Adduse mu ggwanga

Cam1 220x290

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa...

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa e Kibuli

Cranesweb 220x290

Magogo atwala Cranes mu World Cup...

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, aweze nga bw'agenda okukola ekyafaayo ng'atwala Cranes mu World Cup omulundi...

Lwe 220x290

Abadde alondoola abatta mwannyina...

Abadde alondoola abatta mwannyina naye attiddwa mu bukambwe!