TOP

Munkubye nnyo mundeke nsooke nneebakemu...!

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2017

SSEMAKA abadde abba embuzi z’abatuuze n’azibaaga n’abalekerawo ekibaluwa ekigamba nti: ‘‘temutya kulya bitundu bisigaddewo agibaaze Musiraamu’’ alula.

Keeto1 703x422

SSEMAKA abadde abba embuzi z’abatuuze n’azibaaga n’abalekerawo ekibaluwa ekigamba nti: ‘‘temutya kulya bitundu bisigaddewo agibaaze Musiraamu’’ alula.

Baamusanze n’embuzi enzibe ng’azibaaga ne bamutaayiza ne bamukuba n’okumwasa omutwe era yawonedde watono okuttibwa.

Yasin Kakeeto omutuuze w’e Kyasanku mu Mpigi Town Council ye yakwatiddwa.

Yabadde alina n’ekifuluusi kya muwogo gwe yabadde abbye.

Baabadde bakyamukuba poliisi y’e Mpigi n’etuuka n’emutaasa kyokka nga yenna afuuwa musaayi olw’ekiwundu ekyamutuusiddwaako ku mutwe.

 

Abatuuze baagambye nti Kakeeto alina banne b’abba nabo kyokka yagaanyi okuboogera amannya ng’era baakabba embuzi ezisukka mu 10.

Okusinziira ku mutuuze eyabbiddwaako embuzi, yawulidde ekiro ng’embuzi ze ziguluba n’afuluma.

Ababbi badduse n’akuba enduulu baliraanwa ne bazuukuka okumuyambako.

Baagudde kkava nga balowooza nti ababbi bano bakomawo era baabadde balyawo Kakeeto n’akomawo n’ekifuluusi kya muwogo ng’anoonya takisi.

Bwe baamukubye emiggo n’abatwala awaabadde embuzi.

Akulira poliisi y’e Mpigi, Eria Twesigye yagambye nti Kakeeto yagguddwaako ogw’obubbi ku fayiro nnamba : SD:27/15/08/2017.

Kyokka bwe yatuusiddwa ku poliisi yazze mu kwebaka ng’agamba nti baabadde bamukubye nnyo nga n’ekiro kyenkana teyakombye ku tulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans