TOP

Exodus yeegaanyi eby'okumugoba mu kkanisa ya Kayanja

By Glorias Musiime

Added 21st August 2017

Omuyimbi w’ennyimba z'Abalokole Exodus ng'amannya ge amatuufu ye George Lubega yeesambye ebimwogerwako nti yagobeddwa mu Kkanisa ya Lubaga Miracle Centre Cathederal, ewa Paasita Kayanja.

Exodus 703x422

Omuyimbi Exodus

Kino kiddiridde emikutu ehyenjawilo okufulumya amawulire nti Exodus abadde yeefudde mmo mu kuvuma abawagizi ng'agamba nti tabeetaaga nnyo ne bwe baba tebamuwagidde.

Owoolugambo lwaffe atutegeezezza nyi kigambibwa abakulu mu kkanisa baatuula ne basalawo eggoye nti Exodus asooke  alekere awo okujja ku kkanisa kuba empisa ze nsiiwuufu  tezikyatuukana na muntu yayatula era n'akkiriza Yesu Kristo okubeera omulokozi we.

Wabula Exodus bw'akubiddwa essimu okutangaaza ku bimwogerwako ategeezezza nti naye abiwulira mu lugambo, tamanyi gye biva kuba tennagobwako mu Kkanisa ya Kayanja,  gy'akyasabira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono