TOP

Disun Future aleese Tune za Raggae enkambwe

By Martin Ndijjo

Added 24th August 2017

Disun Future aleese Tune za Raggae enkambwe

Tu1 703x422

Disun Future omuyimbi wa Raggae

Nze ssuubi lya Reggae myuziki mu Uganda”. Bwatyo omuyimbi Disun Future ng’amannya ge amatuufu ye Emmanuel Disun Mubiru bwatandika ng’ayogera ku enteekateeka z’alina okufuuka omuyimbi ow’erinnya n’okuddamu okusituula ekitibwa kya Reggae myuziki.

Ng’oggyeko okuyimba Disun musuubuzi atunda bya masannyalaze ku Kampala Road, mulimi ate mulunzi. Mutuuze w’e Ntinda, mutabani wa Betty Namuswe n’omugenzi Disun Mubiru e Mutundwe Kirinya Bigo mu Kanala zooni.

Wadde ayimba n’ebika bya myuziki ebirala, agamba amaanyi okusinga agatadde ku Reggae okumusitula addemu okufuuka omuyimbi ow’amaanyi mu ggwanga nga bw’ali mu mu mawanga amalala kubanga abayimbi nga Madoxx Ssematimba ayogerwako nga kabaka wa sitayiro ya myuziki ono emyaka gimuwuubidde akatambala.

Henry Tigana amaanyi gaamukenddera ate Bebe Cool ayitayo lumu na lumu. Okulaba nga afuna abawagizi ab’enjawulo, Disun ayimba mu nnimi ez’enjawulo okuli; Oluganda n’Olungereza. Twayogedde naye kubulamu bwe obwa bulijjo n’obwokuyimba era yaffe yatambudde bweti.

Bipya ki?

Mbadde mu ‘fumbiro’ nga malirizza alubamu yange empya eyitibwa Maama Africa (eriko enyimba eziweerako) era eno ngigasse ku nnyimba enddala nga Ggulawo, Never let me down, Kabuvubuka.

Lwaki Raggae myuziki wano mu ggwanga tavuga nnyo ng’ebika ebirala?

Obuzibu bwa bitone, abayimbi enaku zino baagala nnyo ebintu ebibanguyiira, ebyetaaga obudde n’okulowooza ennyo, okusengeka obubaka baabivaako ate omuyimbi wa Raggae alina ku ba wa mazima ekitali kubayimbi abasinga obungi.

Naye ogwe mu kulaba omalako era singa  ekirooto kyo kina kigana okutuukira?

Okututumula Reggae ngenda kukolera wamu n’abayimbi abamulimu. Ekirungi ayagalwa era ky’ova oloaba Madoxx wona gy'agenda bamuyaayanira.

Wano we bigana manyi ngya mufuna mu ebweru kubanga eyo wamaanyi.

Kifuufu abayimba Reggae muli bayaga.

Nedda ssebo ekyo mwakikwata bubi ate njagala okimanye nti ffe abasinga emipsa n’obukakkamu.

Okusoomozebwa kw’osanga?

Abantu bazibu okumatiza ate bangi tebasiima abamu balina ebikwata by’abayimbi be bamanyi.

Biki ebikunyiza ku nsike y’okuyimba mu ggwanga?

Okwekuba ‘enkokola’ kuyitiridde, abayimbi abanene bangi tebaagaliza bato olw’okutya okubavuganya n’okubayitako era olumu nkaluubirwa okwawuula wakati w’ensike y’okuyimba n’ebyobufuuzi.

Okwasaganya otya myuziki ne bizinesi enaddala z’okola?

Buli kimu nkiwa obudde, bizinesi ze zirikiriza okuyimba nga nyambibwako maneja wange Harriet.

Naye nga tomayikiddwa ate ng’olabika okuyimba okuluddemu?

Siri muntu nnyo wa kwesoma na ku beera mu bya kuvuganya ebbanga lyonna mabadde nkwata mpola ensonga z’okuyimba kubanga ninna kyenzimba ekinanzijjukirwako olubeera nga bw’olaba Philly Bongole Lutaaya n’abalala era kati ekiseera kyange okumanyika kituuse

Oli mufumbo?

Siri mufumbo ate sinoonya naye ekiseera kyonna njakubayita nga ngenda mu kkanisa.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...