TOP

Debby, amasappe tegaakupasule olukindo...?

By Musasi wa Bukedde

Added 30th August 2017

MWANAMUWALA omuli w’obulamu, Debby Ssempaka yazadde bbebi mu wiiki ssatu emabega ng’era akyali nnakawere.

Pasu 703x422

Kyokka obwannakawere yabusibye ku mpagi n’atandika okulabikako mu bantu n’ebiduula okulya ssente.

Ku Lwokutaano baabadde ku Space Louge ku kabaga ka Desire Luzinda gye baavudde ne balumba e Namboole ku mipiira gy’amasaza ne bba Abraham Luzzi abangi gwe bamanyi nga Mr. Economy.

Ono yabadde asuubizza abazannyi ba Ssingo okubawa omudidi ssinga bateeba ggoolo. Ssempaka yabadde yeesaze omujoozi ne jjiini kyokka ng’olubuto luzimbye ng’alinga atannaba kuzaala.

Owoolugambo waffe atugambye nti kirabika yabadde ataddemu ggata kyokka bamaama ne bagamba nti kiyinza okumuleetera obuzibu kubanga akyali nnakawere nnyo nga n’olukindo oba ebiwundu biyinza okumupasukako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga