TOP

Ssempijja kino okikola otya?

By Musasi wa Bukedde

Added 8th September 2017

EBINTU bya Alex Ssempijja omutegesi w’ebivvulu bizibu okutegeera. Wiiki ewedde, yavuddeyo n’ategeeza nga bw’akooye okutambuliza laavu ye n’omuyimbi Evelyn Lagu mu nkukutu.

Lagu11 703x422

EBINTU bya Alex Ssempijja omutegesi w’ebivvulu bizibu okutegeera. Wiiki ewedde, yavuddeyo n’ategeeza nga bw’akooye okutambuliza laavu ye n’omuyimbi Evelyn Lagu mu nkukutu.

Era okukakasa nti omukwano gubasaza mu kabu, bwe baabadde ku mukolo ogumu e Nansana - Wamala baakubye abantu ebitole bya laavu nga bwe beeriisa n’okwenywesa.

Kyokka abamu ku bantu abamanyi Ssempijja abaabadde ku mukolo guno baawuliddwa nga beebuuza engeri Ssempijja gy’akikolamu nga bagamba nti babadde bamumanyi ne mwana muwala Harriet ono nga nkubakyeyo e South Africa.

Gye buvuddeko Ssempijja abadde apepeya ne Harriet era nga mu bivvulu atambula naye okwali n’ekivvulu kya Chameleone e Lugogo kyokka kati yamutadde ali na Lagu.

Ssempijja agamba nti agenda kumalako Lagu (ku kkono) ennyonta ne situleesi w’abasajja b’azze ayawukana nabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mat14 220x290

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi...

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavument

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza