TOP

Ani ono akakkanyizza Nnankulu w’ekibuga?

By Musasi wa Bukedde

Added 8th September 2017

DAYIREKITA wa Kampala, Jennifer Musisi bwe yabadde alambula ekibuga, yakwatiddwaako omusajja eyabadde atambuza amaviivi n’ebibatu.

Musisisquat1 703x422

DAYIREKITA wa Kampala, Jennifer Musisi bwe yabadde alambula ekibuga, yakwatiddwaako omusajja eyabadde atambuza amaviivi n’ebibatu.

Yakkakkanye wansi n’amukwata mu ngalo okumubuuzaako n’okumanya ebimukwatako.

Oluvannyuma yakutte mu ndyanga n’abaako ky’amuwa ekyatuusizza abaabaddewo okwebuuza oba ababiri bano bamanyiganye.

Musisi yabadde alambula ekibuga Kampala okulaba emirimu gy’okuteeka ebitaala ebikozesa amaanyi g’enjuba, ebinnya ebiri mu nguudo ne kaabuyonjo.

Omusajja ono eyabadde ku Kampala road okuliraana Tropical bank yavuddewo avimba ng’agamba nti abalala gye basimbira layini okunoonya Nnankulu mu ofiisi ze ye yamusanze ku ‘situliiti’ w’ayiiyiza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be