TOP

Fyonna Nsubuga akooye embeera embi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2017

AGAVA ku Salaama Road e Makindye ku Fyima World ge g’omuyimbi Fyonna Nsubuga (ku kkono) okunoba oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne bba Ibrahim Mwanje (ku ddyo) gw’alinamu omwana omu era ng’abadde akola nga maneja we.

Fyona1 703x422

AGAVA ku Salaama Road e Makindye ku Fyima World ge g’omuyimbi Fyonna Nsubuga (ku kkono) okunoba oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne bba Ibrahim Mwanje (ku ddyo) gw’alinamu omwana omu era ng’abadde akola nga maneja we.

Omu ku mukwano gwabwe ow’oku lusegere ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti Fyonna eyayimba, Mpulira Kika, Beera eyo n’endala yasoose kwogera ng’asaaga nti akooye embeera embi n’ekyaddiridde kusibamu bibye.

Mwanje yasoose kulowooza nti oba munne yabadde ayagala kuwummulamu akkakkanye ku birowoozo, kyokka yagenze okuddamu okumulaba ng’akomyewo na mmotoka atikkemu ebibye.

Ababiri bano kigambibwa nti bamaze ebbanga nga bagugulaana wabula ne bamala ne batereera. Fyonna kigambibwa nti yanobedde mu bazadde be mu bitundu by’e Ntebe.

Mwanje twamukubidde enfunda eziwera nga twagala okumanya ekituufu ekyabatabudde wabula n’agaana okukwata essimu ate ye Fyonna eyiye yagiggyeko ndowooza nga bwe yeetereeza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze