TOP

Ebintu Hanson Baliluno by’akola bibuzaabuza

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2017

ENNYAMBALA, embeera ne nneeyisa y’omuyimbi w’ennyimba z’eddiini, Hanson Baliluno bitabudde abawagizi be abamu ne batuuka n’okwebuuza oba ddala eddiini ekyamulimu oba amalala g’ekivubuka ge gamuggye ku mulamwa.

Hanson1 703x422

ENNYAMBALA, embeera ne nneeyisa y’omuyimbi w’ennyimba z’eddiini, Hanson Baliluno bitabudde abawagizi be abamu ne batuuka n’okwebuuza oba ddala eddiini ekyamulimu oba amalala g’ekivubuka ge gamuggye ku mulamwa.

Aboogera bino basinze kutunuulira nnyambala ya Hanson omuli okwambala n’aleka ekifuba ng’akitadde, empale yeesala za damegi n’okusiba ebiraasi.

Ate abalala bamulanga butava mu bbaala ekiro nga n’otwenge tetumukola bubi.

Wabula Hanson bano abaanukudde nti okumutunuulira ku ngulu ne bamusalira omusango bakola kikyamu kuba ye musajja Mulokoke.

Baliluno eyali ayimba ne Judith Babirye naye kati ng’ayimba yekka yagambye nti mu bbaala agendayo lumu na lumu ku bubaga bwa mikwano gye okugeza ak’amazaalibwa ga Desire Luzinda akaabadde ku Space Lounge gye buvuddeko n’obulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga