TOP

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

By Martin Ndijjo

Added 23rd September 2017

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Kub1 703x422

Cameroon Gitawo ng'ali ku mmotoka ye

“OKUSIRIKAMU  mbadde bbize nga ninna pulojekiti ze nkolako omuli n’okugaziya bizinensi ya masomero gange…” bwatyo Cameroon Gitawo (Chris Mbibo) bwatandise bwabuuziddwa gyabulidde ennaku zino oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga tawuulikika.

 Cameroon Gitawo omu ku Bannayuganda abakolera e South Africa era yeyali akulira ekibiina kya ‘The Money Team Africa (TMT) ekivuganya ne Rich Ganga amaze ebbanga nga asiriikiridde era aludde okujja mu ggwanga ekiretedde abawagizi be okutandika okwebuuza gye yabuulira.

Mu kwogerako naye ku ssimu Gitawo ategeezezza nti abadde bbize nga atandika n’okuggulawo amatabi g’essomero lye eya Sandton Technical College mu bibuga bya South Africa eby’enjawulo era mu kiseera kino kati awezezza amatabi musanvu (7).

Gitawo agamba amasomero y’emu ku bizinensi ezisinga okufuna e South Africa era pulojekiti eno agitaddemu ssente nnyingi zaasuubira okufuna mu bbanga eritali lya wala.

Gitawo era amanyiddwa mu nsike y’okulya obulamu ne swagga agamba ekiseera kyonna ayingirawo mu ggwanga addemu okulaga ssente era agamba mu December mwetegefu okukakasa abavubuka abeepika okumansa ssente nti  eswagga alitegeera ne ssente alina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...