TOP

Balwanidde tikiti z’Omutujju

By Musasi wa Bukedde

Added 26th September 2017

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Gub1 703x422

OMUYIMBI Gravity Omutujju (ataddeko gaalubindi) ayiseeko mu katale ka Owino okubuuza ku bawagizi be n’okubakunga bajje bangi mu kivvulu kye ‘‘Tujjuze Cricket Oval’’ ky’ategese ku kisaawe kya Cricket Oval e Lugogo nga September 30. Gravity yasoose kukyalako ku leediyo y’abasuubuzi b’omu katale ka St. Balikuddembe kwe yasiimidde abasuubuzi okuwagira myuziki wa Uganda.

Oluvannyuma yafulumye ng’awerekerwako ekibinja ky’abavubuka obwedda abamukubira emizira okudda ku Kafumbe Mukasa we yabadde asimbye mmotoka ye kyokka yagenze okutuukayo nga talina waayisa kigere n’asoberwa.

Abamu baawalampe waggulu nga bamusaba tikiti z’ekivvulu ze yabawadde kyokka ezisinga baaziyuzizza nga bazirwanira olw’akavuyo n’akanyigo. Oluvannyuma yasimbudde n’avuga mpolampola nga bwabuuza ku bantu n’okuwerekerwako ebbiina ly’abavubuka ng’abasinga baasuddewo emirimu gyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...