TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Omuvubuka agambibwa okufera omugagga Bryan White mumawulire bamukutte

Omuvubuka agambibwa okufera omugagga Bryan White mumawulire bamukutte

By Martin Ndijjo

Added 10th October 2017

Omuvubuka agambibwa okufera omugagga Bryan White mumawulire bamukutte

Ryt1 703x422

Omugagga Bryan White ng'ala ekifaananyi ky'omuvubuka eyamututte mu mawulire nga tafa ku maama we kyokka ng'ali mu kibua agaba ssente kyokka nga Bryan agamba nti maawe we yafa dda mu 97

OMUVUBUKA eyeeyise muganda w’omugagga Bryan White n'amulumiriza obutayamba maama waabwe bamukutte n’alajaana “munsonyiwe siri muganda we mbadde munoonya ampe ku buyambi nga bwemulaba agabira abalala”

Michael Kirabira akwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okwekubya mu lupapula lw’amawuulire olumu nga agamba nti muto wa Bryan White era amwewuunya okulaba nga amansa ssente n'atafaayo kuyamba nnyabwe apooca n’ekirwadde kya ssukaali mu kyalo e Mityana ate nga yatunda ebibye okulaba nga Bryan agenda ebweru gye yafuna ssente.

 mugagga ryan hite ngala ekifaananyi kya maama gwagamba nti yafa dda mu 1997 kyokka ngomuvubuka agamba mbu ali mukyalo ryan tamufaako ali mu mbeera mbi ssaako nokutawaanyizibwa ekirwadde kya sukaali Omugagga Bryan White ng'ala ekifaananyi kya maama gw'agamba nti yafa dda mu 1997 kyokka ng'omuvubuka agamba mbu ali mukyalo Bryan tamufaako ali mu mbeera mbi ssaako n'okutawaanyizibwa ekirwadde kya sukaali

Amawulire gano gatabudde Bryan White obwedda akutte ekifaananyi kya maama we omugenzi Gladys  Nasaazi gw’agamba nti yafa mu 1997 ne bamuziika Kimanya e Busunju era nti Jane Nabaweesi,  Kirabira gw’ayogera yeetamumanyi.

Oluvannyuma lwa Bryan White okwekengera Kirabira okubeera n’ekigendererwa ky’okumwonoonera erinnya yeekubidde enduulu ku poliisi abakoze okunoonyereza ne bamukwata ne bamutwala ku poliisi y’e Katwe.

 muvubuka agambibwa okwogera kalebule ku mugagga ryna hite nga poliisi emukutte okumubuuz akana nakataano Omuvubuka agambibwa okwogera kalebule ku mugagga Bryna White nga poliisi emukutte okumubuuz akana n'akataano

Mu kulaajana, Kirabira agambye nti abantu ababadde bamufaananya Bryan White nga n’olumu bamuyita Bryan White n’okumusaba ssente be bamukozesa ensobi eno.

“Ekituufu siri muganda wa Bryan White bamuzaala Mityana nze banzaala Butambala bazadde bange be bagenzi Badiru Kigozi ne Jane Nabaweesi lwakuba nti Bryan White twakulira ku kitundu kye kimu ku Saalama Road. Obuzibu nti okuva lwe yafuna ssente abadde tatuukikako kwe kupanga nga mpita mu mawulire ndabe engeri gye nnyiza okumutuukako ampe ku ssente.”

Wadde Kirabira yagezezzaako okulaajana n'atuuka n’okufuukamira nga ayagala bamusonyiwe, Bryan White yagaanye nga agamba nti ayagala poliisi enoonyereze kubanga omuvubuka ono yandiba nga alina abantu abaamutumye okumwonoonera erinnya.

Yagasseeko nti abavubuka nga bano abatayagala kukola ne balowooleza mu kufeera abantu be bavumaganya ne gavumenti ya pulezidenti Museveni.

“Bino byembadde mbagamba nti mu Uganda tukyalinamu abantu ab’emitima emibi ng’ono omuvubuka . simumanyi kyokka ye aneesibyeko a nyonoonera erinya era bano Gen. Salim Saleh be yabadde ayogerako bwe nnamusisinkanye nti ne bwe nayamba abantu nga mbawa ssente tebagenda kusiima era ngenda kutwala amagezi ge ag’okukulaakulaanya abantu nga mpita mu by’obulimi”

Ye RPC wa Kampala South Hajji Siraje Bakaleke akakasizza okukwatibwa kwa Kirumira ategeezezza nti bagenda okunoonyereza bazuule ekigendererwa kye. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20180926at113101 220x290

Poliisi e Masaka ekkirizza okuwa...

Poliisi e Masaka ekkirizza okuwa obukuumi bannakibiina kya DP abagenda okukuba olukung'aana gaggadde e Masaka ku...

Mknmin1 220x290

Minisita Nakiwala ayingidde mu...

Omuwala Julian Ainambabazi (30) eyali akola mu bbaala emu e Mukono n’aganzibwa omubaka wa palamenti owa Samia Bugwe...

Chelseacahill 220x290

Cahill akooye bbenci

Aston Villa, y'emu ku ttiimu ezaagala okugula Cahill kyokka eno ya Championship nga ye ayagala kuzannyira mu Premier....

Loodi 220x290

Bano babeera wa nga Lukwago bamusika...

LOODIMEEYA Erias Lukwago y’omu ku bannabyabufuzi abazze bafuna okusoomoozebwa n’okutulugunyizibwa abaserikale....

United 220x290

Ebizibu bye ndabidde mu laavu mbikubye...

NZE Justine Nalweyiso 24, mbeera Kyebando Nsooba ndi muyimbi nga nnaakayimba ennyimba okuli Bbebi Ndunya, Ndaba...