TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga bannayuganda kye bayita ssente mu December

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga bannayuganda kye bayita ssente mu December

By Martin Ndijjo

Added 16th October 2017

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga bannayuganda kye bayita ssente mu December

Don2 703x422

Omugagga Don Bahat ng'ali mu mmotoka erimu ne zi Doola

BANNAKAMPALA abanyumirwa okulya obulamu n’eswagga bafunye ku ssanyu, Bannayuganda abakolera emitala w’amayanja bayite ‘Abasama’ bwe batandise okukuba n’okufulumya pulaani y’okubacakaza mu December
 
Mubakasembayo okulangirira enteekateeka zaabwe ez’okucakaza Bannakampala ye mwana mulenzi Don Bahat (Bahat Lubega) akolera e South Africa ne Zambia.
 
Okwongera amaanyi mu nteekateeka ze, Bahat yeegatiddwako Julio Mugerwa naye akolera e South Africa era bano baweze ‘okujooga’ ng'enjogera y’ennaku zino bweri ku kabaga ak’enjawulo kebategese okubaawo nga December 28 mu Club Guvnor akabaga kano bakatumye Money & Power.
 

“Nga bwennagamba era nyongera okukikkaatiriza nti  ekintu omugenzi Don Ivan Ssemwanga kye yatandika eky’okusanyusa Bannayuganda nteekwa okukitwala mu maaso era ng’oggyeko okunywa n’okulya tugenda kutonyesa enkuba ya ssente abantu balonde.

 
Tetugenda kukoma ku kya kusanyuka naye n’okuyamba abo abali mu bwetaavu y’ensonga lwaki tutaddewo eky’okusasuza abantu ku mulyango ssente ezigenda okuva mu n’ezo ze tunaayongerako tugenda zigaba mu bantu abatalina mwasirizi ate mu mbeera y’emu kino kigenda kutuyamba okukendeeza ku mujjuzo gw’abantu.”
 
Bano bagasse ku bankuba kyeyo abalala okuli; Zari Hussani, Don Zella, Nabatuusa, Soul Sisters n’abalala nabo abamaze okulangirira ekitegeeza kumpi buli lunaku lugenda kuba lwa kulya ssente na kunyumirwa bulamu mu mwezi gwa December.
 
Bahat era avuddeyo ku bantu ababayita abasawo b’ekinnansi mu mbu gwe mulimu gwe bakola e south Africa agamba nti aboogera kino babalinako nsaalwa era tebagenda kubaggya ku mulamwa gw’okukola ssente ku banga balina emirimu egy’obuvunaanyizibwa gye bakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA ALEESE GANO...

Museveni afulumizza pulaani kakongoliro ku byokwerinda era n’alangirira nti eby’okutemula Kaweesi y’abyekwatiddemu....

Goba1 220x290

'Abasika mukomye okwezza ebintu...

Paasita Luciano Ronald Kivumbi owa Real Liberty Church, Luteete awadde amagezi abasika okukomya okweza ebintu...

Pala3 220x290

Muloope Abapoliisi abeenyigira...

PULEZIDENTI Museveni agambye nti obumu ku bumenyi bw’amateeka obugenda maaso mu ggwanga bwenyigiddwamu n’abamu...

Bika 220x290

UCU erwanira Women's Cup

UCU Lady Cardinals erina omukisa okuzza ku nsimbi ze yasaasaanya okukansa bassita ba ttiimu y’eggwanga abasatu,...

Twala 220x290

Eng'onge eri ku Ngabo

BAZZUKULU ba Nakigoye Abekinyomo, baakamudde aba Kisoro (Abehhonge), entuuyo mu mpaka z'emipiira gy’Ebika by'Abaganda...