TOP

Big Eye ne Weasal bawunya mata

By Musasi wa Bukedde

Added 14th November 2017

ABAYIMBI Weasel Manizo (Douglas Sseguya Mayanja) owa Goodlyfe ne Big Eye (Ibrahim Mayanja) owa Big Muzik essanyu lye balina lya mwoki wa gonja.

Mata 703x422

Baganzi baabwe buli omu amuzaalidde ssukaali era bwe bakuyitako nga bawunya amata toseka.

Suzan Nantongo (ku kkono) nkubakyeyo e Bungereza amanyiddwa nga Debbie Lavis muganzi wa Big Eye omupya ye yasoose okuzaala ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde.

Ono yazaalidde Bungereza era wakati mu ssanyu, Big Eye yategeezezza nti omwana bamutumye Suraya Phinchin Mayanja.

Yabadde akyajaganya ate ne muganzi wa Weasel omupya Talia Kassim naye ku Lwokuna n’amuzaalira bbebi.

Talia, Weasel gwe yakazza mu kifo kya Samira Tumi eyamuzaalira omwana omulenzi omwaka oguwedde oluvannyuma lw’okukyala mu bakadde be e Jinja ate oluvannyuma ne baawuukana.

Talia yazaalidde mu ddwaaliro e Kibuli era omwana bamutumye Thia Nabukeera. N’okutuusa kati ab’emikwano n’abawagizi ba Weasel nga bayita ku mikutu ogy’enjawulo bakyamuweereza obubaka obumuyoozayooza ssaako okumubalira omuwendo gw’abaana baawezezza.

Waliwo obwedda abagamba nti awezezza 31 mu bakazi ab’enjawulo ate abalala nga bakola gwa kumwebaza okujjumbira omulanga gwa Nadduli.

Abalala obwedda beebuuza nti ku Big Eye ne Weasle ani akoppo munne okutuuka okuzaalira okumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka 220x290

Mayiga atongozza olukiiko olutegeka...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga alagidde akakiiko akagenda okutegeka olunaku lw’abantu ba Kabaka ababeera ebweru...

Lab1 220x290

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye...

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye katono battingane!

Mariach5 220x290

MC Mariach akiggadde! Kabiite we...

MC Mariach akiggadde! Kabiite we Mirembe Lydia Bogere amwanjudde mu bakadde be

Kaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze ebyakoleddwa okumatiza amagye okuyimbula muka Mugabe. Ate agenda okusikira Mugabe bamulagidde annyonnyole...

Mak1 220x290

Buganda esiimye emirimu gya AD...

Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gya AD Lubowa