TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Kitooke akoledde omuyimbi we akabaga mikwano gye ne badda mu bwama

Kitooke akoledde omuyimbi we akabaga mikwano gye ne badda mu bwama

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2017

HAJJI Haruna Mubiru akutte akaso n’asala keeki n’embooko y’omuwala enduulu n’etta abalabi. Ate kyayitiridde ng’omuwala afukamidde agabula Hajji!

Mum 703x422

Wano emboozi we yatandikidde ng’abagenyi abaabadde ku mukolo beebuuza nti, oyo y’ani era kyakoleddwa mu mutima ki? Ansa zaabadde za mangumangu eri buli omu naye ng’abasinga balumiriza nti, eyo nayo Hakki ya Hajji Haruna.

Okwo ne bagattako nti yandiba nga ye yawaηηangusa Hakki ya Haruna nnamba emu, Stella Nakyanya Ssonko kyokka nga yeeyita Raudha Mubiru. Oyo muwala wa Guster Lule Ntakke gwe yawasa mu 2010.

Embooko eno ye muyimbi eyeeyita Kemie Sera mu kibiina kya Kream Productions Reloaded ekya Kitooke.

Ago g’emannya g’akozesa mu kuyimba kyokka ng’amatuufu ye Sarah Kemigisha ng’ayimba Akagatto, Omukwano lugoye, Amalala, Omponyezza n’endala. Era ye muwala eyali mu vidiyo y’Akasaale eya Haruna Mubiru gwe yali awaana ng’amugoba ku basajja abalala babiri.

ABAKYALA ABALALA

Hajji Haruna alina abakyala abalala babiri okuli Hadija Lumala, muwala wa Moses Lumala eyali avuga emmotoka z’empaka ne Raudha. Waliwo omulala eyali mu vidiyo ya Kitooke kifa nsalira gwe bayita Faridah era oyo gw’oyinza okuyita mukaziwe eyasooka n’amuzaalamu omwana ne baawukana.

Yamuzzaako omulala gwe bayita Zaina kyokka ne baawukana nga tebazadde mwana. Raudha nga gwe yasooka okuwasa empeta, essaawa eno ali mu Amerika gye yagenda wabula Hajji Haruna Mubiru yategeeza nga yaakagenda nti alina ow’oluganda lwe (olw’omukyala) gwe yali agenze okujjanjaba akomewo mangu n’awakanya eky’okuba nti baatabuse n’anoba.

Kati awezezza omwaka n’emyezi ebiri takomangawo ne ku facebook kwe yasinganga okubeera, akafaananyi ke yakaggyako.

Kigambibwa nti ebimu ku byamunyiizanga z’ensonga z’abakyala bba, Hajji Haruna b’azze amugattako.

Wadde akimanyi nti Haruna Musiraamu eyeesobola ng’alina ebbeetu okuwasa abakyala abana naye ye Raudha, ye mukyala mukulu gwe yasooka n’okuwasa embaga kyokka yamupangisiza bupangisiza ennyumba e Munyonyo ng’akyali na mugole ate Kitooke bwe yawasa Hadija oluvannyuma, yamuweerawo amakage e Kabowa mu ggombolola y’e Lubaga.

Mu kunnyonnyola, Haruna agamba nti Hadija gwe yasooka okwagala wadde ng’emikolo gya Raudha gye gyasooka.

AKABAGA K’AMAZAALIBWA

Akabaga k’amazaalibwa kaabadde ku bbaala ya Deuces e Kansanga ku Lwokubiri nga ne bazadde ba Kemie Sera baagubaddeko n’abantu abalala.

Mu kwogera, Haruna yategeezezza nti omukolo ogwo omuwala oyo gwamukoleddwa ttiimu ye ey’abawagizi nga beegattiddwako Catherine Kusasira era ye Hajji yabaddewo ne basala ne keeki nga mukama we.

Abayimbi abaayimbye kwabaddeko Princess Amiirah, Grace Ssekamatte, Evelyn Lagu n’abalala era baamwagalizza amazaalibwa ag’emyaka 23.

KEMIE SERA AYOGEDDE

Hajji Kitooke mukama wange kubanga y’ankozesa. Ennyumba agimpangisiza nga mukozi we. Muwa nnyo ekitiibwa ate era mwagala nga mukama wange.

“Ebigambo by’abantu bizibu obeera olina kubigumira’’.

Yabuuziddwa ebibuuzo bino n’abiddamu bwati;

Ggwe omu ku baatabula Raudha Mubiru n’addukira mu Amerika

Bannange…, bannange..

Bagamba nti omwana wo wa Hajji;

Ebyo bigambo by’abantu.

Mu vidiyo y’Akasaale mweraga laavu ne Hajji;

Twali tulaga bantu bye balowooza mu mukwano era twali tuzannya buzannyi ng’omuzannyo.

Ne bazadde bo mu lonki y’Akasaale ku Club Obligatto omwaka guno beebaza Hajji okukulabirira ne basuubiza n’okubawa ente mwembi ekyaleetera abantu okulowooza nti yakuwoowa na dda;

Haaa... bannange, omutwe gunnuma…!

Hajji Mubiru agamba nti abo abaana babatwagaza naye tekibeera kituufu lwakuba balaba nga tubalabirira baveeyo ne bakitusibako. Kati oyo ne kitaawe yampa ente okunneebaza okumulabirira. Ekituufu kiri nti, oyo n’abaana abalala mu bbandi, bazadde baabwe baabampa mbakulaakulanyize ebitone era bayimba bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.