TOP

Bayiye kaasi mu kwanjula kwa Mutiibwa ne Kinene

By Martin Ndijjo

Added 17th November 2017

Enkiiko ezitegeeka okwanjula kwa Doreen Mutiibwa ne Michael Kinene aba Golden bandi zitandikidde mu ggiya, abawagizi bayiise mu lukiiko olusoose ne betama nobukadde 42,766,600/-

Muti1 703x422

Kinene ne Mutiibwa nga batuuka mu kifo awabadde olukiiko oluteekateeka okwanjula kwabwe

ABAWAGIZI ba Doreen Mutiibwa ne Michael Kinene abayimbi aba Golden bandi bayiise mu lukiiko olutegeka okwanjula kwabwe ne betama obukadde 42,766,600/-

Ku ssente ezo, 2,450,000/- zaasondeddwa mu buliwo mu lukiiko olwasoose nga lwatudde ku Muganzirwazza e Katwe ku Lwokuna.

Emikolo gya kubaawo nga 14 December, 2017 e Zirobwe- Kyetume mu maka ga Dr. Male William Mutumba.

alt=''

 

Ssentebe w’olukiko olutegeeka omukolo, Hajji Issa Musoke yasoose kukudaalira bayimbi bannaabwe, Catherine Kusasira ne bba Fred Sserugga bwe yagambye nti ebyabwe bwe biba bikyalimu amakuuli, kabamalirize ebya Bamutiibwa bo babatwale nga kyakulabirako.

Abagole baasoose kwogera nti bo balinawo obukadde 22 kwe baasabye abawagizi baabwe babongererezeeko.

 ajjati aridah tecia ayanja ngalaga ssente emitwalo 50 ze yawaddeyo Hajjati Faridah Stecia Mayanja ng'alaga ssente emitwalo 50 ze yawaddeyo

 

Omukolo gwabadde nga kivvulu omwabadde okunywa n’okulya ng’abayimbi omwabadde Queen Florence, Catherine Kusasira, Rebecca Jjingo, Sophie Gombya, Carol Nantongo n’abalala bwe bayimbira abasonda  ssente.

Flavia Namulindwa, Fifi Da Queen aba Bukedde TV ne Rebecca Jjingo be baabadde bayamba ku Issa Musoke okukikwasaganya ng’enjogera bw’eri.

 ifi a ueen ne lavia amulindwa aba ukedde v nga basala dansi Fifi Da Queen ne Flavia Namulindwa aba Bukedde Tv nga basala dansi

 

Abamu ku baawaddeyo n’okwetema; Catharine Kusaasira- 2,000,000/-, Musa Kavuma- 1,500,000/-, Mesach Ssemakula- 1,000,000/-, Maureen Nantume- 1,000,000/-, Sarah Nakayi (mukya wa Ssemakula) 1,000,000/-, Stecia Mayanja 500,000/-, Ttiimu Doreen mutibwa 500,000/-, Moses Matovu 500,000/-, Maneja Jimmy 500,000/- Hajjati Janate Ssempala ddoola 50, n’abalala.

Mesach Ssemakula yayoozezzaayoozezza abagole olw’ebbanga lye bamaze nga beekumidde wamu ne batawuuliriza ng’ambo zaawula bafumbo.

 ophie ombyaku kkono arah akayi muka esach semakula owokubiri ku ddyo ne aureen antume Sophie Gombya(ku kkono) Sarah Nakayi muka Mesach Ssemakula (ow'okubiri ku ddyo) ne Maureen Nantume

 

Mutiibwa ne Kinene bamaze emyaka 14 nga bagalaana, balina abaana babiri. Mu June wa 2016, Kinene yakyala mu maka ga bazadde ba Mutiibwa.

kuva ku kkono ajji sa usoke usa avuma ne esach semakulaOkuva ku kkono; Hajji Isa Musoke, Musa Kavuma ne Mesach Ssemakula

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...