TOP

Baswengere ab'oku Bukedde Tv basazeeko Bannakampala

By Moses Nsubuga

Added 23rd November 2017

Bakazannyirizi ba Swengere family bawera kusa Bannakampala nseko

Swenge1 703x422

okuva ku kkono Ibanda Muyonjo, mukyala we Maama Kalibbala ne mutabani waabwe Kalibbala

IBANDA Muyonjo, mukyala we Maama Kalibbala ne mutabani waabwe Kalibbala abeegattira mu Swengere Family obadde obalaba ku Bukedde TV n’obuzannyo bwabwe obw’Olusoga, kati ogenda kubalaba layivu.

Enkya (Lwakutano) lwe batandika okutalaaga ebintu eby’enjawulo mu kivvulu kye batuumye ‘Swengere Family Tour 2017’ mwe bagenda okulagira obuzannyo bwabwe obunyumira ennyo abantu.

Basookera ku Theatre La Bonita mu Kampala era Muyonjo abasinga gwe bamanyi nga Kalibbala ategeezezza nti mu kivvulu kino beegattiddwako abayimbi okuli omuziki Sheebah Karungi ne Ykee Benda abaayimba Ffaama olwo balyoke battunke mu mazina, okuzannya emizannyo n’okuyimba.

banda uyonjoku kkono ne mutabani we alibbala Ibanda Muyonjo(ku kkono) ne mutabani we Kalibbala

 

Obumu ku buzannyo bwabwe obucamula abantu;

  • Lumu Kalibbala yasanga mmotoka ya kitaawe Swengere nga yenyeenya n’adduka ayite maama we ng’alowooza alimu n’omukazi omulala. Maama we yajja n’ejjambiya kyokka Swengere agenda okuggulawo ng’omuziki gwe gunyeenya emmotoka n’aswala.
  •  Olulala Kalibbala yali akola ‘home work’ nga bamubuuzizza okuwandiika ebintu eby’enjawulo mw’oyinza okuggya amazzi. Taata we Swengere  eyali yamugamba nti ye yali asinga mu kibiina yamuddamu firiigi na nsuwa ne bamusekerera.
  •  Swengere yawakana ne neyiba we ng’amutendera omwana we okuba nga y’asinga obusiru. Okukakasa kino yayita Kalibbala n’amutuma mu nnyumba alabe oba taata we gyali. Kalibbala yadduka za mbwa n’ayingira era olwadda n’amutegeeza nti taliiyo. Swengere kwe kutegeeza neyiba nti ekyana okirabye, oba neyiba ye yakizaala?

Baategeezezza nti oluva ku La Bonita bagenda Mbale ku Thatch Gardens nga December 23, ate nga December 30, bamalire ku Satellite Beach e Mukono.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

U 220x290

Abazannyi ba Arsenal baboola Aubumeyang...

Agava mu Arsenal galaga nti abazannyi abamu si basanyufu na kyakoleddwa mutendesi Unai Emery okulonda Aubameyang...

14807561277401561480756273noticianormalrecorte1 220x290

Capello ajereze Ronaldo: 'Mu myaka...

Eyaliko omutendesi wa Juventus Real Madrid ne Bungereza, Fabio Capello alumbye Cristiano okuba omwavu w’empisa....

Papa 220x290

Ronaldo ne Sarri batabuse

Wazzeewo obutakwatagana wakati wa Cristiano Ronaldo n’omutendesi wa Juventus, Maurizio Sarri.

Lumba 220x290

Mourinho akoonye Guardiola

Akakuku ka Jose Mourinho ne Pep Guardiola tekasuubirwa kuggwaawo.

Duka1 220x290

Eyabbye omwana bamusanze ne bba...

OMUKAZI eyabbye bbebi wa munne ow’emyezi esatu n’amutwalira omulenzi gwe yalimba olubuto, Poliisi yamulinnye akagere...