TOP

Aba Swengere Family ekintu bakiwanise

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd November 2017

Aba Swengere Family ekintu bakiwanise

IBANDA Muyonjo, mukyala we Maama Kalibbala ne mutabani waabwe Kalibbala abeegattira mu Swengere Family obadde obalaba ku Bukedde TV n’obuzannyo bwabwe obw’Olusoga. Kati ogenda kubalaba layivu.

Bategese ekivvulu kye batuumye ‘Swengere Family Tour 2017’ mwe bagenda okulagira obuzannyo bwabwe obunyumira ennyo abantu leero ku Lwokutaano ku Theatre La Bonita mu Kampala.  Swengere yategeezezza nti mu kivvulu kino beegattiddwako kafulu w’omuziki Sheebah Karungi ne Ykee Benda abaayimba Ffaama olwo balyoke battunke mu mazina, okuzannya emizannyo n’okuyimba.

Obumu ku buzannyo bwabwe:

Lumu Kalibbala yasanga mmotoka ya kitaawe Swengere nga yenyeenya n’adduka ayite maama we ng’alowooza alimu n’omukazi omulala. Maama we yajja n’ejjambiya kyokka Swengere agenda okuggulawo ng’omuziki gwe gunyeenya emmotoka n’aswala.

Olulala Kalibbala yali akola ‘home work’ nga bamubuuzizza okuwandiika ebintu eby’enjawulo mw’oyinza okuggya amazzi. Taata we Swengere  eyali yamugamba nti ye yali asinga mu kibiina yamuddamu firiigi na nsuwa ne bamusekerera.

Swengere yawakana ne neyiba we ng’amutendera omwana we okuba nga y’asinga obusiru. Okukakasa kino yayita Kalibbala n’amutuma mu nnyumba alabe oba taata we gyali. Kalibbala yadduka za mbwa n’ayingira era olwadda n’amutegeeza nti taliiyo. Swengere kwe kutegeeza neyiba nti ekyana okirabye, oba neyiba ye yakizaala?

Baategeezezza nti oluva ku La Bonita bagenda Mbale ku Thatch Gardens nga December 23, ate nga December 30, bamalire ku Satellite Beach e Mukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup