TOP

‘Nantongo okuze tulage akusuuta’

By Musasi wa Bukedde

Added 27th November 2017

OMUYIMBI Carol Nantongo bamuggyemu omwasi. Obutafaanana bayimbi banne abakuza obubaga ne balemera ku myaka 25 okumala emyaka etaano n’okusukkawo, Nantongo ategeezezza nga bwe yaakalya Ssekukkulu 22.

Nto 703x422

Emyaka gye yagyogeredde ku kabaga k’okukuza amazaalibwa ge akaategekeddwa abawagizi be ku Fair way Hotel mu Kampala.

Mukwano gwe yasoose kumubuzaabuza nga bw’ayagala okumuwerekerako bakutule ddiiru ng’eno gye yeekanze banne abaasunze champeyini eyamuyiikidde mu nviiri zonna.

Mukama we mu Golden Band, Mesach Ssemakula ye yabadde omugenyi omukulu.

Wabula abaabaddewo abaamulabye ng’ayoza ku mmunye bazze mu kwebuuza oba okumwogeza emyaka kwe kwamukaabizza oba essanyu lye yawulidde nga bamukoledde akabaga ekituufu ku byombi nze naawe.

Waliwo abaawuliddwa nga beeyogeza nti Carol wayengera dda tulage n’omusajja wo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.