TOP

Ekivvulu ky’omuyimbi Tarrus Riley kisaziddwaamu

By Musasi wa Bukedde

Added 1st December 2017

EKIVVULU ky’omuyimbi Tarrus Riley kisaziddwaamu. Bannayuganda abawagizi b’omuyimbi Omujamica enzaalwa ya Amerika, Tarrus Riley n’abanyumirwa emiziki gya reggae basigadde bannyogoze oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okusazibwamu kw’ekivvulu kye.

P01br7lf 703x422

Omuyimbi Omujamica enzaalwa ya Amerika, Tarrus Riley

Tarrus Riley kafulu w’okuyimba ennyimba za reggae abadde alina okuyimba leero (December 1) ku Cricket Oval e Lugogo kyokka okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa aba Red Fog, bapulomota b’ekivvulu bategeezezza nga bwe kyasaziddwaamu ne kyongezebwayo mu March 2018 oluvannyuma lw’okusaba okwakoleddwa omu ku ba siponsa abataddemu ssente ng’ayagala bongere okukiranga n’okulaba nga kinnyikira mu bantu.

Ng’oggyeko abawagizi ba Tarrus wano mu ggwanga ababadde beesunga okumulabako naye abadde yeesunga kutuukako Kampala era ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Facebook wiiki ewedde yawandiise ng’agamba nti ekirooto kye okutuukako e Kampala kituukiridde.

Ezimu ku nnyimba za Tarrus Riley mulimu; Just the Way You Are, She’s Royal, Gimme Likkle One Drop, Don’t Come Back, Sorry is a Sorry Word n’endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...