TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Sisobola kwogera kigambo kyesittaza mu maaso ga muwala wange - Fifi De Queen

Sisobola kwogera kigambo kyesittaza mu maaso ga muwala wange - Fifi De Queen

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2017

Obuvunanyizibwa kye kimu ku bintu ebifuga obulamu bwa buli muntu. Buno nno butandikira ku muntu yennyini nga ssekinnoomu ne bulyoka busasaanira abantu abalala.

Fifa1 703x422

Fifi De Queen ne muwala we

Ng'emu ku mpisa z'obuntu bulamu endala, obuvunaanyizibwa nabwo bulina kuva buto.

Fifi Da Queen omukozi ku Bukedde Ttivvi alaze engeri gy'akuzizzaamu muwala we okubeera omuntu w'obuvunanyizibwa.

Ayogedde;

Ng'omuzadde, nnina essuubi nti lumu muwala wange Tamera Zuri Nsubuga alifuuka omuntu ow'omugaso mu bulamu bwe n'obw'abantu abalala.

Bwentyo nzikiriza nti eky'okubeera omuntu ow'obuvunanyibwa nnina okukissaako amaanyi naddala ng'akyali muto akole nakyo.

Nkola bino wammanga okukakasa nga Zuri wange akula nga mwana wa buvunanyizibwa;

  • Muyigiriza okugabana ne banne, kino nno nkakasa ng'ajja kukula ng'akimaanyi okugabaana kabeera kabonero kakufaayo ekintu nze kyenkakasa nti kabeera kabonero akooleka omuntu w'obuvunaanyizibwa ku bantu abalala.

 

  • Zuri ng'akomyewo ku ssomero, mmulagira okukola emirimu emitonotono gamba ng'okweyoleza obutambala n'empale ze . Mwene abyekolera ng'olwo nze bwe mmulung'amya.
  • Buli lukya muwala wange mujjukiza nti "mwana mulungi" era kino nkiwerekeza ebigambo ebimulaga nti abakyala abalungi babeera bakozi.
  • Si buli muwala wange ky'ansaba nti nkimuweerawo. Olumu mugamba nti ajja kukifuna olulala. Ekigendererwa kumulaga nti okufuna ebintu ebirungi oteekeddwa okubikolerera.
  • Siyogera kigambo kyesittaza mu maaso g'omwana wange kubanga sagaala kwesittaza matu ge.
  • Omwana wange simulimba era nga simukwekerera kubanga nkakasa nga mugezi nnyo.
  • Ng'omuzadde, ndi kyakulabirako eri omwana wange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere