TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Saxess Busuulwa omuwandiisi w’ennyimba afudde akukkulumidde abayimbi

Saxess Busuulwa omuwandiisi w’ennyimba afudde akukkulumidde abayimbi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2017

OMUWANDIISI w’ennyimba Saxess Busuulwa ng’amannya ge amatuufu ye Umar Busuulwa afudde akukkulumira abayimbi b’azze ayiiyiza ennyimba ne bamusasula busammambiro nga bo bayoola omudidi.

Mpa 703x422

Busuulwa eyafudde ku Mmande ekiro nga bamulongoosa mu lubuto oluzze lumutawaanya n’amagulu okuva lwe yagwa ku kabenje ka mmotoka mu 2007, alese omwana omu.

Okuwandiika ennyimba yakutandika 2005 okutuusa 2010 lwe yagonda olw’obulwadde era abaddenga ajjanjabibwa naddala ku ddwaaliro lya Corsu ku lw’e Ntebe n’ery’e Lubaga.

ATANDIKA OKUWANDIIKA ENNYIMBA

Yasooka kubeera mukwano gwa muyimbi Chagga ne Jose Chameleone ekyamuleetera okuwandiikira Chagga mu biseera ebyo eyali mu kibiina kya Chameleone ekya Leone Island oluyimba lwe bayita Jangu eno Maama ne lukwatayo we yazuulira nti alina ekitone.

Mu August w’omwaka guno, yali awayaamu ne Bukedde n’agamba nti, yaddako kuwandiikira Fiina Mugerwa oluyimba lwa Bukya wepanka bampasudde n’amuwaamu 400,000/- wabula ye yafunamu bukadde na bukadde.

Abadde awandiikira wakati wa 1,500,000/- ne 2,000,000/- ng’asobola okuwandiika ennyimba nga 20 omwaka. Ekirala ekibadde kimuluma be bayimbi abatamwogerako mu konsati zaabwe nti ye yayiiya ennyimba ze baba bakoledde ebivvulu ebinene.

N’agattako nti be baamulemesa ne mu kazigo ewa Zzana ku lw’e Ntebe gy’abadde apangisa era afudde eky’obugagga alina kimu kya poloti e Nakawuka kyokka nayo nga yamulema okuzimbamu.

Bamuzaala Kinaawa okumpi n’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso ew’omugenzi Hajji Ali Male Busuulwa ne Jane Nakkazi Nsubuga.

Awangudde n’engule eziwerako ng’omuwandiisi w’ennyimba. Yaziikiddwa e Kyengera Mugongo eggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...