TOP

2018 nkola binnyumira byokka - Polofeesa

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2018

2018 nkola binnyumira byokka- Polofeesa

Gil3 703x422

POLOF. Gilbert Bukenya ye yabadde omugenyi omukulu ku kivvulu kya Fik Fameica (mu katono) eyayimba ‘Byenyenya, Kutama ne Sitani tonkema’. Yatuuse ku Sky Beach ku Freedom City e Namasuba ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ng’alina abawala babiri.

Yasanze ebifo bye baabitegese dda n’atuula wakati olwo abawala ne bamutuula erudda n’erudda. Ensonda zaategeezezza nti omu ku bawala bano (ali ku ddyo mu kifaananyi waggulu) abeera naye awaka era kigambibwa nti ye yamukuza n’okumuweerera. Kyokka ababimanyi bagamba nti omuwala ye yaleese mukwano gwe eyabadde abeesabeesa Polofeesa Bukenya.

Endongo yatandise ne banyumirwa obulamu era obwedda bafa essanyu nga bwe bawanika emikono, okwekuba obwama ng’eno bwe bafuuwa ebbidde. Bonna baatuuse ekiseera nga batunula baloola gy’obeera nti empewo ya bbiici ebayiseemu.

 

Wabula ekyasinze okwewuunyisa abantu y’engeri Muzeeyi Bukenya gye yabadde yeeyisaamu n’abawala bano nga bamanyi n’okumuteekako emikono ku magulu nga beekuba obwama kyokka nga tafaayo ekyaleetedde abantu okutandika okweyogeza nti kirabika guno omwaka polofeesa akola bimunyumira byokka.

Ssaawa y’okugula olutambi lwa n’amucookooza ng’agamba nti yayise n’omukyala naye abeeko ky’awaayo.

MC bwe yaleese akazindaalo yakawadde muwala eyabadde (ku ddyo) n’akasindikira munne atudde (ku kkono) n’ategeeza nga bw’ajja okuwaayo 500,000/-. Baazisasudde mu kkaasi.

Wano abadigize we baatandikidde okwebuuza oba ono ye muninkini we omupya? Ku ssaawa nga 7:00, polofeesa yasituse n’akwata abantu be ku mukono ne bafuluma. Fik Fameica bwe yatu- use, Polofeesa yawaddeyo 1,000,000/- kyokka MC

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiruddu1 220x290

Ettaka 1 nga liriko ebyapa 2 ku...

Enkaayana z’ettaka lino okulinnya enkandaggo kiddiridde Palamenti okuyisa bbiriyooni 4 zikozesebwe okugula n’okuzimba...

Bizi 220x290

Mukama yaddamu essaala yange n’ampa...

BWE nnali nvubuka, nnawuliranga nnyo abantu nga beekokkola abaagalwa baabwe olw’emize gye babalaga era kyanneeraliikirizanga...

Ssengalogo 220x290

Ndeete omukyala omulala?

Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nze nnina 75.

Ow'emyaka 50 abbye omwana n'amusiba...

POLIISI y’e Kasangati ekutte n’eggalira abafumbo oluvannyuma lw’omukazi ow’e myaaka ataano okubba omwana n’amusiba...

Ssande1 220x290

Abazadde basse omwana waabwe ne...

Okukebera mu kisenge, kwe kuzuula omulambo gw’omwana nga yattibwa ne bamuteeka wansi w’omufaliso Ssande ne mukyala...