TOP

Eyayimba ‘Faama’ bamusuddewo

By Musasi wa Bukedde

Added 18th January 2018

YKEE Benda ayawukanye n’omuwala bwe babadde bateekateeka okwanjula.

Benda1 703x422

Ssenga wa Batenga ayitibwa Lilian Nassolo ng’alamusa ku YKee Benda.

YKEE Benda ayawukanye n’omuwala bwe babadde bateekateeka okwanjula.

Wadde tayogera nsonga ntuufu eyabatabudde ne muganzi we ono, omuyimbi YKee Benda akakasizza nga bwe yayawukanye ne mwana muwala Julie Batenga nga kati amaanyi agamalidde ku myuziki we.

Bino we bibeereddewo nga YKee Benda (ng’amannya ge ye Wycliff Tugume) omu ku bayimbi abookya mu kiseera kino eyakuyimbira ‘Faama ne Sheebah, Malayika, Superman n’endala nga yaakamala okukyala mu maka ga Lillian Nassolo mukyala w’omubaka Jonhson Muyanja Ssenyonga omukulu e Nabutti- Mukono ng’eno ye wa Ssenga wa Julie mu May w’omwaka oguwedde, omukolo abamu gwe baayita ogw’okwanjula olw’obungi bw’ebintu ne nnamba y’abantu abaagwetabako.

Bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku nsonga eno, YKee Benda ataayagadde kubaako kiwanvu ky’ayogera, ng’agamba nti ensonga eno bw’agyogerako emulumya omutima yazzemu nti “kituufu buli omu ali bibye era musabira mirembe yonna gy’ali.”

Yagasseeko nti “okwawukana n’omuntu tekitegeeza mpalana, nja kusigala nga njogera naye nga bwe nindirira ekiddako….”

Ensonda zaategeezezza nti bano babadde baafunamu obutakkaanya n’okusika omuguwa okuli Batenga okuteebereza YKee okubaliga ate nga YKee Benda naye alina ensobi z’atera okukwatiramu Batenga.

 ee enda lwe yakakasa ulie atenga nti amufa bitole namunaanika empeta YKee Benda lwe yakakasa Julie Batenga nti amufa bitole n’amunaanika empeta.

 

Kyokka YKee Benda ku ky’okubaliga yegaanye ng’agamba nti eby’abakazi yabyesonyiye okumala kabanga asooke yeemalire ku myuziki we.

Batenga muwala wa Harriet Birabwa ne David Walugembe ate Ykee Benda mutabani wa Ruth Mbabazi ne Alex Mpakanyi ab’e Kireka.

Wabula ow’oluganda lwa Batenga yagambye nti eby’okwawukana tebannabitegeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Twala3 220x290

Aba UPDF balaze ebifo bye baakasuuza...

AMAGYE ga UPDF galaze ebifo ebyali eby’omutawaana bye baakasuuza abakambwe ba Al Shabab, gye baasinziiranga okulumba...

Unity 220x290

Ab’e Buvuma batutte NFA mu kkooti...

ABATUUZE abasoba mu 300 okuva mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma batutte...

Kalekayihuraindeepthoughts 220x290

Abaserikale batulugunya batya abantu...

AMERIKA olwatadde ekkoligo ku Kayihura, n’atandikirawo okulaajana nti: Baagala kunzita, baagala kunsaanyaawo….....

Nyiiga 220x290

Poliisi esuuzizza ababbi ente gye...

ABASERIKALE ba poliisi ennawunyi basuuzizza ababbi mmotoka y’ekika kya Ipsum nnamba UAT 194J mwe baabadde batambuliza...

Noda 220x290

Mmotoka ya Kitatta nayo eri ku...

ABDALLAH Kitatta we yabeerera omuyima wa Bodaboda 2010, alina abantu naddala aba bodaboda be yanyiiza ne be yakoleranga...