TOP

Spice Diana ne Moze lino ffujjo oba laavu?

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2018

SPICE Diana yeegasse ku bayimbi abalidde bwiino era okubakakasa nti diguli emuli mu ttaano, olwavudde e Makerere okuttikirwa yasibidde ku Calender Rest House e Makindye gye baamutegekedde akabaga n’agabula banywanyi be.

Kiisi 703x422

Muyimbi munne Moze Radio owa Goodlyfe naye yabaddeyo.

Spice Diana ng’amannya ge amatuufu ye Diana Namukwaya bwe yatuuse okugabula keeki yeekoze obusolo ne Moze Radio ne batabula abantu era abamu baavuddeyo balowooza nti abantu bano bandibamu engeri endala.

Yalabye Moze Radio azze okumuyozaayoza kwe kukwata akatundu ka keeki n’akateeka ku mumwa n’amusemberera ng’agenda okumukuba kiisi n’ekyaddiridde kumuliisa keeki.

Enduulu yasaanikidde Calender Hotel era abantu baavuddeyo beebuuza lwaki kino yakikoze ku Radio yekka kubanga waabaddewo bayimbi banne abasajja bangi.

Oba Diana ne Radio baabadde mu ffujjo oba laavu yeebatawaanya? Nze naawe. Spice Diana yafunye diguli mu kusiiga ebifaananyi okuva e Makerere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.