TOP

Ebyana bitaayizza Bafande e Mbarara

By Musasi wa Bukedde

Added 30th January 2018

EBYANA okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo byasazeeko ekibuga Mbarara ku wiikendi.

Tea 703x422

Byabadde tebigenze kusuubula matooke wabula kunyumirwa mmotoka z’empaka ezaabaddeyo.

Owoolugambo waffe atugambye nti n’abakuumaddembe baabaddeyo mu bungi okukwasisa amateeka; abadigize obutakola ffujjo.

Kyokka batugambye nti abamu ebyana ebyabadde byesaze obukete obwedda bibayitako nga bwe binyeenya obubina ne basoberwa.

Era abamu baafunyeyo bye bataayiza (ng’ono ku kkono) gwe twagwiikirizza ng’ekyana kimusazeeko.

Kyokka waliwo atugambye nti alabika muntu we yazze naye si nakindi okuba owooluganda.

Omuzannyo bwe gweyongedde okunyuma, kabangali z’abaserikale baazibuuseeko olwo abadigize ne bazibuukira okulaba obulungi ekigenda mu maaso.

Eno waggulu yawambiddwa abavubuka ba ‘Antilag Fans Group’ okuva e Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam