TOP

Mad Rat ne Chiko batabukidde Kato Lubwama

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd February 2018

OLUTALO lwavudde ku bigambo Omubaka Kato Lubwama bye yayogera gye buvudeko bwe yali ku ttivvi emu.

Buk 703x422

Ono yabuuzibwa ku ngeri gy’alabamu ekisaawe kya komedi ennaku zino naye ebigambo ebyamuvaamu byali bya busagwa.

Ono yasensula bakazannyirizi bonna n’okubakkakkanya nti bye bakola bya kito, bifu era tebikyanyuma.

Yagambye nti bano eby’okuzannya byabaggwaako era okudda engulu balina kumwegattako abayiiyize olw’ensonga nti kye kibataasa kyokka.

Bino olwagudde mu matu ga Mad Rat ne Chiko (waggulu), Salvador, Ann Kansiime, era olutalo lw’ebigambo ne lubalukawo.

Bano mu kumuddamu baamulangidde obukadde, okubeera nga takyalina ‘waaka’ mbu asigale mu palamenti oba akole ogw’obufuusa.

‘Kato Lubwama komedi we yagwaako era takyasobola kusanyusa baana ba yunivasite era bw’aba awakana ajje tusindane tulabe ani asinga okusesa’ Mad Rat ne Chiko bwe baategeezezza. Oba bino bigenda kukoma wa? Amaaso ku lutimbe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...

Kulanna 220x290

Eyali bba wa Kulannama awadde Kenzo...

Eyali bba wa Senga Kulannama n’amugoba, Abdul Lubega, awadde Kenzo amagezi nti byonna by’ayitamu ye (Lubega) bifaanana...