TOP

Abayimbi basuubizza obubadi ku Valentayini

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2018

ABAYIMBI bawera kukuba bacakaze laavu nabo bagyewuunye mu ndongo ‘Kakundiiri’ etegekeddwa ku Freedom City.

Waga 703x422

Ekivvulu kino kiwagiddwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde famire, ekituumiddwa Valentine Love Fete nga kyakubeerawo14 February, 2018.

Ekivvulu kino kitegekeddwa kkampuni ya Bajjo Events ng’eyambibwako amakampuni amalala okuli Darling Uganda, Africel ne Rose Foam, kigenda kukuηηaanya abayimbi bangi abakyasinze okuyimba ennyimba za laavu.

Mu bano mulimu; Golden Bbandi, Jose Chameleone, Irene Ntale, Iryn Namubiru, King Saha, Chris Evans, Ykee Benda n’abalala.

Abayimbi abamu bawera kujja na baganzi baabwe nga balinga abatuukiriza enjogera egamba nti ‘babiribabiri enfi ssi ya kulya.’

Abatalina baganzi baabwe abamanyiddwa, nga Chris Evans nabo bawera waakiri okufuna abawembejja ku olwo nabo bayite mu lunaku ng’abamanyi ensi y’omukwano bw’etambula.

Emiryango ku Freedom city gya kuggulwa ku ssaawa 2:00 ez’oku makya okukeesa obudde.

Okuyingira 20,000/- ate ababiri 30,000/- ate abakungu 50,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....