TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Nnyina wa Spice Diana annyonnyodde by'amannya g'Ekisiraamu agali ku biwandiiko bye

Nnyina wa Spice Diana annyonnyodde by'amannya g'Ekisiraamu agali ku biwandiiko bye

By Musasi wa Bukedde

Added 14th February 2018

BEAT Nantale annyonnyodde ku linnya lya Hajara

Spice703422 703x422

BEAT Nantale annyonnyodde ku linnya lya Hajara  Natale agamba amannya ga Spice Diana amazaale ye Diana Namukwaya wabula erinnya ly’ekisiraamu ‘Hajara’ ly’akozesa ku mpapula ze lyamuweebwa taata we omuto (bba wa maama we) gye yakulira. 

“Olw’okuba lino yalikozesa mu P7 okwewala okutaataaganyizibwa twasalawo agende nalyo ku mitendera emirala naye kino tekitegeeza nti Musiraamu” Mu katambi kano akakyayogeza abantu obwama, Spice Diana awulikika ng’agamba nti “ Mu S6 nali nkola History, Art ne Luganda ne nfuna 32 (kyokka makisi zino mu S6 teziriiyo). 

Nali omu ku baasinga okukola obulungi kubanga bangi baasigalamu (mu S6 temuli bya kusigalamu okuggyako ng’omuntu agudde n’ayagala okugiddamu). 

Yagasseeko nti yayitira mu ddaala lyakubiri ekyayongedde okubatabula kubanga enkola eno teriiyo mu A-level ya mu O-level.

Kyokka oluvannyuma yaleese ebbaluwa z’obuyigirize bwe okwabadde n’eyamuweebwa ku ssomero lya Kampala Citizen College gye yatuulira S.6 ng’obubonero obutuufu yafuna 14. 

Abalala ebituli obwedda babikuba mu ddiguli ya ‘Industrial and Fine Arts’ (Spice Diana gy’ayita Industrial Fine Art & Design) gye yaakafuna e Makerere ekisaanudde maama we n’agamba nti “ssinga abantu bamanyi ennaku n’okuboonaboona muwala wange kw’ayisemu ng’asoma tebandiyogedde batyo. 

Diana atobye era kumpi y’abadde yeesomesa era ddiguli ye ntuufu agiwakanya agende e Makerere naye abantu bave mu bigambo n’okumalamu muwala wange amaanyi.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...