TOP

Suuna Ben asekeredde abamuyita munnakyalo

By Ponsiano Nsimbi

Added 26th February 2018

ABANTU abeekuluumuludde okuva mu bitundu eby’enjawulo okwetaba mu kivvulu ky’omukozi wa Bukedde Fm Suuna Ben bamuleese akaseko ku matama n'awera nti gano gakyali mabaga!

Ben13 703x422

Suuna Ben aweereza pulogulamu ya Bukedde butya ne Kayibanda okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano, ekikiri eya buli Lwamukaga ekiro ne Kadongokamu Lumamyo ku Lwomukaaga emisana yategese ekivvulu kye yatuumye ‘’Ensasagge y’endongo ne Suuna Ben’’ mu kisaawe e Bulenga ku Lwomukaaga eyasombodde abantu okuva mu bitundu eby’enjawulo n'e Masaka gy’azaalwa.

Ab'e Masaka baakulembeddwa nnyina Prossy Kayondo gwe baakwatiridde  okulinnya ku siteegi olw’essanyu eryamubugaanye olw’omukwano abantu gwe baalaze mutabani we gwe yagambye nti yayingira ebidongo ng’akyali mu siniya ey’okubiri  oluvannyuma lwa kitaawe okufa ng’ali  mu kyakubiri.

alt=''

Mu ssanyu eringi Suuna yagambye mu kujja e Kampala bangi baamusekerera nti agenda kugwa kyokka essawa ya leero yeeraba nga y’omu ku baweereza ba leediyo abasinga okumanyika n'ettutumu.

Yayongeddeko nti ebidongo yabitandikira mu kaliyoki nga mw'ajja fiizi ezimuweerera.

Essaawa zaagenze okuwera 11:00 ez’olweggulo  ng’endongo etandise okusindogoma era ng’abantu bakwatiridde mu nnyiriri okwefunira tikiti ezibayingiza mu ndongo, ennyiriri  zaabadde zituukira ddala ku luguudo lw'e Mityana okumpi n'akatale k'e Bulenga.

Abayimbi abaamannya ne bannakatemba baasanyusiza abantu ng’eno abakozi ba Bukedde Fm okwabadde; Godi Godi, Kayibanda, Simo Masaba, Tica Tica, Katula n'abalala  bwe babanyumiza emboozi.

Abayimbi abaasanyusiza abantu kwabaddeko Stabua Natoro, Lil Pazo, Jammie Culture, Agent, Swahaba Kasumba, Sasha Briton, Henry Mwanje n'abalala.

Suuna Ben yalinnye ku siteegi ku saawa 6:30 ez'ekiro enduulu n'esaanikira ekisaawe.

Ono  yafukamidde ne Kayibanda ne beebaza abantu olwokubalaga omukwano n’okwagala Bukedde Fa Ma Embuutikizi.

 suuna en nnyina wakati ne aibanda nga beebaza abantu Ssuuna Ben, nnyina (wakati) ne Kaibanda nga beebaza abantu

Oluvannyuma yayanjulidde  abawagizi be nnyina era  olwamulabyeko ne batandika okwesomba ku siteegi nga bwe bamufuuwa ssente nga bamwebaza okubazaalira Suuna afuuse ensonga era ono naye yafukamidde wansi  ne yeebaza abakulira Vision Group etwala n’olupapula lwa Bukedde olwokuwa mutabani we omulimu ogumufudde ky'ali  olwaleero saako n'abantu abazze okumuwagira.

Ku ssaawa 7:00 Suuna Ben yeegasse ku D.J Tonny  Mbaziira eyabadde mu byuma n'abakalakata omuziiki omuziki ogwanyumidde abantu kumpin kukeesa budde ng'akoowa y'afuluma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...