TOP

Serena Bata ayaayaanira laavu ya Sipapa

By Musasi wa Bukedde

Added 6th March 2018

OMUYIMBI Serena Bata akaabidde bba, Sipapa amwongere ku kadde k’amuwa mu by’omukwano naye afa ennyonta.

Muta703422 703x422

Serena bino yabikaabidde mu katambi akaabadde mu ssimu ye gy’agamba nti yamubbiddwaako abantu ababi ne bakassa ku mikutu gya ‘soso midiya.’

Mu katambi ako, Serena alaga Sipapa nga bw’amuwa ssente kyokka ng’ekya ssente tekimala era alaajana nti;

Sipapa, taata wange, mwami wange, nsaba ontegeere bulungi, si bya ssente, naye mpa ku budde obumala.

Ekinnuma ogenda n’otambulamu n’omala kumpi wiiki nga ne gy’oli simanyiiyo.

Kale mmanyi nti waliyo munnange (mugya we, Brown Shugar) gy’obeera naye omuwe obudde naye ate era waliwo lw’obeera nga n’eyo si gy’oli. Sipapa, Sipapa, Sipapaa... mukwano si ssente, si ssente Sipapa.

Nnina bingi ebinnuma mukwano, olumu wampa n’emmotoka ate n’oginzigyako ne nsirika.

Mukwano nyamba, ggwe ggwe nnina, ewaffe tuli banaku ky’ova olaba nga sifa nnyo ku bya ssente naye nkusaba obeewo, Sipapa mukwano ntaasa….

SERENA AYOGEDDE;

Serena agamba nti akatambi akasaasaanye ennyo yakakwata emyaka esatu egiyise bwe yali ayogera ne muganzi we, Sipapa.

Wabula gye buvuddeko, waliwo eyabbye essimu ye n’akasaasaanya. Agamba nti akatambi ako kaalowoozesezza abantu nti ali ku mbirigo ne Sipapa wabula bali bulungi mu laavu, ebyo bikadde.

SIPAPA AYOGEDDE;

Nze eby’akatambi naakabiwulira. Naye era nga Serena bw’agamba, bikadde. Obwo bwe budde bano abayaaye b’e Kampala lwe baayagala okumupaaza bano ba Muswa ate nga tebamusobola.

Bwe baamupaaza ne mugyako n’emmotoka naye bwe yeetonda n’akomawo ne mugulira empya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.