TOP

Afande eyeyambudde agguddwaako omusango

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2018

AFANDE wa poliisi, Esther Akol nnamba 59524 PC, eyeekubisizza ebifaananyi by’obuseegu ng’ali mu yunifoomu ya poliisi n’abiteeka ku mikutu gya yintanenti omulimu gwe guli mu lusuubo.

Baana 703x422

Baamugguddeko omusango gw’okweyisa ng’ekitagasa ku fayiro nnamba SD:110/07/03/2018.

Akol akola mu kitongole kya ‘VIPPU’ ekikuuma abeebitiibwa. Atwala ekitongole kya Poliisi ekikwasisa empisa ekya ‘PSU’ mu bitundu by’e Jinja, D/AIP Joseph Kabungeki olwalabye ebifaananyi bino n’alagira ‘Corporal’ Zabina Namuhenga aggule ku muserikale ono omusango.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire, yategeezezza nti ekibonerezo ekiweebwa omuntu aba yeeyisizza mu ngeri ng’ eno, kiba kya kumussa ku ddaala oba okugobebwa mu poliisi.

Kati Akol alindiridde lunaku lwanaayitibwa mu kkooti ya Poliisi yeewozeeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

Gata 220x290

Atutte malaaya ku poliisi lwa kumumma...

GWE baakubye ennyondo ne bamunyagako pikipiki yeeraliikiriza abooluganda lwe oluvannyuma lw’abantu abatamanyiddwa...

Tamale11 220x290

Mabirizi atutte Tamale Mirundi...

MALE Mabiriizi atutte Tamale Mirundi mu Kkooti Enkulu olw’okumulebula bwe yagamba nti minisita Kuteesa yamukozesa...

Kwasa 220x290

Enguudo ezibadde ziyimbya Bannakampala...

ENGUUDO ssatu ezimaze emyaka nga zikaabya bannakamapala KCCA ezikwasizza kkampuni ezizikola era omulimu gutandise....

Alalo1 220x290

Bategese okusabira eyafiira mu...

Poliisi ekwataganye ne famire y'omuserikale eyafiira mu nnyonnyi nebategeka okumusabira ku kkanisa ya All Saints...