TOP

Bryan White alaze mwannyina omukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 9th April 2018

Bryan White alaze mwannyina omukwano

Gib2 703x422

SARAH Nakakande olwafulumye omulyango gw’ekisaawe ky’e Ntebe, omugagga Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White yabuuse n’amugwa mu kifuba n’amusitula nga bw’amukulisa ekkubo manya ennyonyi era olw’essanyu eringi yatulise n’akaaba.

Nakakande ye mwannyina wa Bryan White abeera e Yitale gy’amaze emyaka 25. Baamukwasizza ekimuli ng’eno embuutu bwesindogoma n’okumuzinira amazina. Yamutuuzizza mu Lexus Convertable embikkule nnamba UBA 070K n’amuvuga nga bwawerekerwako oluseregende lwa mmotoka okutuuka ku Speke Resort Munyonyo gye yamukoledde akabaga makeke.

Eno baasanzeeyo ab’emikwano, ab’enganda n’ab’ekibiina kya Bryan White Foundation ne balya, okunywa n’okusala ddansi ng’eno abayimbi okwabadde Big Eye, King Micheal ne bakazannyirizi Mad Marat ne Chiko, Alex Muhanji ne Ttica Mpamire bwe basanyusa abantu. Obwedda akoowa yadda awaka. Waggulu Bryan White ng’aliisa mwannyina keeki. Ku kkono ng’azina n’abayimbi nga bw’abafuuwa ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.