TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Winnie Nwagi akookoonyezza ab'e Mpererwe ne bamuyiikira ku siteegi

Winnie Nwagi akookoonyezza ab'e Mpererwe ne bamuyiikira ku siteegi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th April 2018

OMUYIMBI Winnie Nwagi yatuuse e Mpererwe nga yeesaze akagoye akaabadde ne fasoni nga ku kugulu okwa ddyo kakomolwa ne kasigala nga kalaga ekisambi kumpi kutuuka kukimalayo ate nga ku ddyo kakibikka bulungi.

Ya1 703x422

Abavubuka baatandise okweswanta nga baagala okumukwatako era abamu baafunye omukisa n’abawuubira kyokka abalala ne beewagaanya ne bamukuba ku kabina n’okumukwata ku bithambi.

Kyayitiridde bwe yatuuse ku siteegi okuzina akagoye ne keesika kumpi kabina kulabika olwo enduulu n’etta abadigize.

Obwedda buli lw’akutamamu okunyeenya ekyensuti ng’abawagizi basaakaanya olwo abagumu ne bamulumba ku siteegi bazineko bonna.

Nwagi eyayingiddewo ng’ayimba “ Kano Kozze”, yabadde ne bane okwabadde Vinka, Senga Nantume ne Mariachi ku bbaala ya Zina Land eyabadde eggulwawo nga be baaleteddwa okusanyusa abadigize wiikendi ewedde.

Nwagi olwavudde ku siteegi abaabade bawakana nti tayambadde ‘akabikka omulalu’ ne bamuyiikira bakakase wabula buli omu amukwatako akola gwa kutendereza mwanamuwala bwe yabaza ethambi n’ebbina nga mu bano mwe mwabadde ne Dj Nimrod eyakoze ogw’okumusiimuula akatuuyo ku kithambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

emboOKO z’abawala ezongedde ebbugumu...

Endabika y’abawala bano (okuba abalungi mu ffeesi) n’okuba ne ffiga ennungi tebikomye ku kubatunda nga bbo mu bantu,...

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.