TOP

Kituufu Mutiibwa ne Kinene balemedde mu Bungereza?

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2018

Kituufu Mutiibwa ne Kinene balemedde mu Bungereza?

Kin1 703x422

DOREEN Mutiibwa ne bba Michael Kinene (ku ddyo) be bamu ku bayimbi abaagenda okuyimba mu kivvulu kya Paasika ekya Bannayuganda e London mu Bungereza.

Oluvannyuma lwa bannaabwe bwe bagenda okuli; Weasel, Spice Diana, Cindy Ssanyu, Ykee Benda ne Eddy Kenzo okukomawo ate nga ne mu bivvulu gye babalanga okuyimba wano mu ggwanga tebalabikako, ebigambo byatandise okuyitiηηana nti Mutiibwa ne bba badduse ku pulomoota eyabatwala n’ekigendererwa ky’okusigalayo.

Kyokka Halimah Kalikunzira omuyambi wa Mutiibwa gwe twayogedde naye, yategeezezza nti ababiri bano okusigalayo kyali kiteketeeke nga ne pulomoota akimanyi nti baagala kwewummuzaamu mu kye bayise ‘Honeymoon’ y’omukolo gwabwe ogw’okwanjula.

Ate ye mukwano gwa Mutiibwa ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti Mutiibwa alina ab’oluganda mu Bungereza abaagala asigaleyo mu kiseera kino agezese embeera okulaba oba anaamalako asigaleyo oba okukomawo ne bba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu