TOP

Effujjo ligobezza kansala mu kkanso

By Musasi wa Bukedde

Added 16th April 2018

KANSALA Ronald Kasiriivu (ku kkono)owa disitulikiti y’e Wakiso eyanyakula akazindaalo ku kansala munne Charles Lwanga ng’aleeta ekiteeso ky’okuggya obwesige mu Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika agaanye okwetonda ne bamugoba mu lukiiko.

Goba 703x422

Kasiriivu akiikirira divizoni y’e Gombe. Owoolugambo waffe atugambye nti Sipiika w’olukiiko luno, Simon Nsubuga yalabye Kasiriivu ebintu abireetamu effujjo kwe kumugoba mu lukiiko n’amuwa n’akakwakkulizo okuwandiika ekiwandiiko ekimwetondera ne bakansala.

Bw’agaana ng’eby’okudda mu kkanso abivaako. Kasiriivu yagambye nti okunyakula ku

Lwanga akazindaalo yamala kulaba ng’ekiteeso ky’aleeta kibi nnyo nga ye tasobola kukigumiikiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte