TOP

Lutaaya ebyobufuzi bimuwuuba luno!

By Musasi wa Bukedde

Added 16th April 2018

TAATA Pius ng’amba Geoffrey Lutaaya bwe yakuba oluyimba ‘‘Ndi yadde yaddeko’’, abantu baalowooza nti ali mu muzannyo.

Kola 703x422

Ekituufu kiri nti Lutaaya ow’Emityebiri ssente azikoze nga kati anoonya waakuwummulira ng’eddoboozi liyingiddemu enfuufu.

Agava e Munyonyo gy’asula gagamba nti omukulu ono yazzeeyo ku misomo nga yeetegekera okuyingira mu byobufuzi.

Yatandikidde ku kkoosi ya kompyuta gy’aliko ennaku zino okumuyambako okutambuza obulungi bizinensi ze ng’olugimala ng’alumba yunivasite y’e Makerere.

Yategeezezza nti, ‘‘omuziki ngukubye, ssente nzikoze, abaana mbalina kati kye kiseera okuweereza abantu b’e Kyotera.

Wabula saagala kutuuka ku ssaawa esembayo ate nzire mu ffolofotto mbu ate nasomera mu Kayembe CU, Pakalast SS n’ebirala.

Njagala kutegeka bulungi empapula zange n’okuzongerako abantu bampe akalulu nga tebalina kye beekwasa.

Bwe twamubuuzizza ekibiina kyalimu yagambye nti tajja kuvuganyiza ku kaadi ya kibiina kyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda

Deb1 220x290

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa...

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa