TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Diamond eyali bba wa Zari akatambi k'obuseegu kamuzaalidde ebyeru!..Poliisi emuggalidde

Diamond eyali bba wa Zari akatambi k'obuseegu kamuzaalidde ebyeru!..Poliisi emuggalidde

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2018

OMUYIMBI Omutanzania Diamond Platnumz akiguddeko! Poliisi emukutte lwa kusaasaanya bifaananyi bya buseegu.

Bata 703x422

Diamond eyayawukana ne Zari Hussein gye buvuddeko era ayogerwako ng’omuyimbi asinga okukuba emiziki mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa okukwatibwa kiddiridde okwekwata ku katambi ka vidiyo ng’ali n’omuwala mu buliri basinda omukwano n’akateeka ku mikutu gya yintanenti.

Okusinziira ku mukutu gwa https://www.nation.co.ke, Minisita w’ebyamawulire e Tanzania, Harrison Mwakwembe yavumiridde ekikolwa kya Diamond n’ategeeza nga bwe kimenya Ssemateeka era kivvoola eby’obuwangwa era tewali muntu agenda kuttirwa ku liiso nga yeeyisa mu ngeri ng’eno.

Mu butambi buno, Diamond yabadde n’omuwala abamu obwedda gwe bayita Hamisa Mabetto abadde agugulana ne Zari ate abalala nga bagamba nti yafunye mbooko ya Muzungu empya era baakutte obutambi obuwerako.

Bano obwedda beenywegera n’okwekola obusolosolo nga Diamond aggyemu essaati.

Tommy Ssempijja akola ku by’okutumbula myuziki wa Diamond mu Uganda yagambye nti Diamond yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Zari yavumiridde ekikolwa kya Diamond n’asaba ne bamaneja be okumala okusengejjanga ebintu bya Diamond ebifuulumizibwa.

Bino we bibeereddewo nga waliwo ennyimba za Diamond ezaawereddwa nga bagamba nti zirimu eby’obuseegu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA