TOP

Aba B2C bakyusizza olunaku lwa Concert yaabwe

By Moses Nsubuga

Added 25th April 2018

Aba B2C bakyusizza olunaku lwa Concert yaabwe

Hip1 703x422

Aba B2C nga bali mu lukung'aana lwa bannamawulire ku freedom city

ABAYIMBI ba  B2C  balangiridde nga bwe bakyusizza olunaku lwe baali balonze okutegekerako ekivvulu kyabwe ku lunaku lumu ne SWANGZ Avenue.

Bano ababadde bateekateeka konsati yaabwe ebadde ey'okubaawo nga 31 Aug wabula nga ku lunaku lwe lumu olwo n'ab'ekibiina kya Swangz avenue kwe bagenda okujaguliza emyaka 10 era nga bateekateeka n'okuleeta omujamaica Tarrus Riley.

Bategeezezza nti okuvuganya mu kukuba omuziki bbo tebalulaba nga lutalo wabula kye bafaako ennyo kwe kulaba nga bawa abawagizi baabwe ekyo kyennyini ekibanyumira era ekibasuubirwaamu yensonga lwaki  basazeewo okukyusa olunaku bongere okweteekateeka obulungi.

Bino babitegeerezza mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe batuuzizza ku Freedom City  omwabadde  ne mukama waabwe Andy events, Jonathan Nalebo okuva mu humble management, aba B2C bona omuli Bobby Lash, Delivad Julio and Mr Lee nga bakyusizza okutuusa nga 7 september.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda