OMUKOZI ku ssundiro ly’amafuta asuddewo omulimu n’adduka n’omuvubuka abadde azze okunywa amafuta. Bino biri mu vidiyo y’omuyimbi Racheal Namiiro owa Da Nu Eagles gye yatuumye “Akatambaala”. Vidiyo eno eraga omuvubuka azze okunywa amafuta kyokka aba asimba mmotoka ku pampu, omuwala n’alinnya mu mazzi ne gasamukkira mmotoka.
Mu kutya okungi omuwala yakozesa sikaati ye okulongoosa mmotoka kyokka n’omulenzi n’asikayo akatambaala ke okumulongoosa sikaati n’oluvannyuma n’akamulekera kyokka mukwano gwe n’akamubbako ekintu ekyamumenya omutima. Eno ye vidiyo ya Namiiro eyookubiri nga yagikwatidde Lweza.