TOP

Omuwagizi wa Mesach oba yanywedde biki?

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2018

OMUWALA ono yasoose kwewombeeka naye olwasuddemu obucupa bubwo n’atabuka.

Faza 703x422

Laba ate Mesach Ssemakula bw’asuulamu oluyimba lwa Abawagizi bange ne gujabagira.

Yasituse we yabadde atudde n’atandika okuzina okukkakkana ng’alinnye ku siteegi Mesach gye yabadde n’atandika okwemoola nga bw’azina naye.

Yatuusizza ekiseera n’ayimiriza okuyimba n’awa omuwala ono akazindaalo naye ayimbemu kyokka yabadde avuyabuvuya nga n’ebigambo tebyatuka.

Omuwala ono olwavudde ku siteegi, teyazze we yabadde atudde wabula yagenze azinira mu bifo eby’enjawulo olwo ne yeegattibwako mukyala munne wamma ne bakoona ddansi nga bwe bakkirira ng’oyinza okulowooza nti waliwo amuwakanyizza.

Waliwo ekiseera we yamubakidde ng’amagulu gamwegaanyi.

Baabadde ku Satelite Beach e Mukono mu kivvulu kya Golden Band nga bajaguza okuweza emyaka 4 bukya batandika bandi eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.