TOP

Bamuyiyeeko petulooli bamwokye n’atagggya

By Musasi wa Bukedde

Added 7th May 2018

ABATUUZE b’e Lungujja Kosovo baasatidde bwe baakutte omuvubuka agambibwa okuba omubbi ne bamuyiira Petulooli ne woyiro bamwokye n’agaana okukwata omuliro.

Uni 703x422

Omuvubuka ono Frank Ssemugenyi 25, mutuuze w’e Lungujja - Kosovo.

Agamba nti omulimu gwe alonda sikulaapu wabula yatuuse mu maka g’omugagga e Nakuwadde n’alondayo ebyuma n’abipakira mu nsawo.

Yabadde tannamaliriza ne bamuzingako ne bamukwata ne bamukuba emiggo nga bagamba nti bulijjo y’abba ebintu byabwe ne baleeta petulooli bamwokye.

Ssemugenyi mu kwewozaako yagambye nti nga yenna asobeddwa ng’atandise n’okusoma essaala y’okubonerera ebibi, waliwo omutuuze eyakubidde poliisi n’emutaasa n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago wabula ng’okugulu bakumenye.

Bino byamutuuseeko ku Lwokuna ku ssaawa 4:00 ez’emisana e Nakuwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo